Wabula ababaka abamu ebirayiro babikubidde mu bifo ebyenjawulo olw'embeera zaabwe ez'ebyobulamu, okubadde omubaka wa Adjuman west Gen Moses Ali, alayiridde mu ofiisi ye olw'obugonvugonvu, saako Asiimwe Enos omubaka owa Kabula county alayiridde mu conference Hall ya parliament olw'obuvune bweyafuna mu kugulu.
[caption id="attachment_49978" align="alignnone" width="300"]
Ababaka Gen. Moses Ali ne Asiimwe Enos nga balayizibwa okuweereza mu parliament eye 12[/caption]
Ababaka bano baalondebwa mu kalulu ka bonna akaakubwa nga 15 January,2026. Era nga bebekisanja ekya 2026-2031.
Ssemateeka w'eggwanga ennyingo eye 81(1) ekakata ku buli muntu alondeddwa okubeera omubaka wa parliament okusooka okukuba ebirayiro 2, nga tanabaako mirimu gyonna gyakola ng'omubaka wa parliament.
Ababaka bano bakuba ebirayiro bibiri okuli eky'okweyama okuweereza eggwanga ekya oath of allegiance, n'ekirala ekyokutuukiriza emirimu gy'omubaka wa parliament.
Amateeka agaluηamya entambuza y'emirimu mu parliament gakugira omuntu yenna atakubye birayiro ebyo okutuula mu parliament okukola emirimu ng'omubaka wa parliament.
Okulayiza ababaka kuno, kwesigamiziddwa ku nsengeka y'amannya g'ababaka abalonde okuva ku A - Z, era bakulayira mu mpalo nga bweyalambikibwa kalaani wa parliament Adolf Mwesigye.
Okulayiza ababaka abalonde abawerera ddala 529 kwakumala ennaku 3, kukomekereza ku Friday nga 15 May,2026.
Omubaka we Kabula Asiimwe Enos yagguddewo okulayira kuno, ate omubaka omukyala owa district ye Nakasongola Zawedde Victoria yagya okuggalawo okulayira kw'ababaka ba parliament eye 12.
Ababaka Gen. Moses Ali ne Asiimwe Enos nga balayizibwa okuweereza mu parliament eye 12[/caption]
Ababaka abawerera ddala 180 bebakubye ebirayiro byabwe olunaku okusoose.
Wabula ababaka bano batandiise okulayizibwa mu kiseera nga parliament eye 12 tenaggalawo mirimu gyayo mu butongole.
Embeera eno ereeseewo akatuubagiro, olwa parliament y'eggwanga okubeera n'abakaka ba mirundi ebiri, okuli aba parliament eye 11 n'aba parliament ey'omulundi ogwe 12.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment