Ekibinja ky’aakungu okuva mu Obusiinga bwa Rwenzururu nga bakulembeddwamu  Amyuka Katikkiro wabwe Baritazare Kure Benson bagenyiwadde embuga mu Bulange e Mengo, okubaako ensonga zebeebuuza ku nkola y’emirimu mu nteekateeka gyebaliko ey’okuyitimusa Obusiinga.

Baaniriziddwa Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule.
Basoose kulambula  Olukiiko lwa Buganda ,Woofisi ezenjawulo mu Bulange ,Ebitongole ebyenjawulo omuli Radio ya Kabaka Cbs ,BBS Terefayina,ekitongole ky’obulambuzi, Buganda Land Board n’ebifo ebirala.
Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule abebazizza olw’okukiika embuga n’okufaayo okwebuuza, era n’abategeeza nti kikulu nnyo olw’embeera gyebalimu ey’okwezza obujja okuyitimusa ekitundu gyebava.
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika Owek. Robert Waggwa Nsibirwa abalambululidde enkola y’emirimu mu Buganda, omuli ensengeka y’obuvunaanyibwa bw’abakulembeze ku mitendera egyenjawulo, n’ebitongole.
Mu ngeri yeemu wategekeddwawo ensisinkano eyenjawulo ne ba minister ba Buganda nebabalaambululira ebikolebwa mu ministry zaabwe.

Mwetabiddwamu akiikiridde Katikkiro, nga yemukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick  Luwaga Mugumbule ,Omumyuka owookubiri owa Katkikiro Owek Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa ,Minister wa Bulungibwansi Obutonde bwensi n’ekikula Kya Bantu Oweek Mariam Mayanja Nkalubo ,Minister w’ebyenjigiriza ne byobulamu  Owek Cotildada Nakate Kikomeko ,Minister w’obuwangwa n’ennono eby’obulambuzi n’a Masiro,Owek Anthony Wamala, Minister wa Cabinet ,Olukiiko ,Abagenyi n’ensonga ezenjawulo mu Woofisi ya Katikkiro.

Balambudde Radio ya Kabaka CBS era nebateegezebwa nti netegefu okugabana obukugu bwerina munzirukanya y’eby’empuliziganya ne nkulakulana eri Obusinga bwe Rwenzururu nekigendererwa okyo kukulakulanya Obukulembeze obw’ennono mu bitundu ebyenjawulo .

Ssenkulu wa CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe agambye nti betegefu okuwa Obusinga amagezi ku ngeri y’okukulakulanyamu abantu be Rwenzururu ,omuli okuluηamya abantu, okunyweeza Obuwangwa n’Ennono.

Amyuka Ssenkulu wa kitongole kya Buganda Land Board Bashri Kizito Juma abanyonyodde nti ekitongole kyabwe kikola emirimu egyenjawulo omuli okusomesa abantu amateeka agakwata ku ttaka n’engeri yokulikuuma.

Amyuka Katikkiro wa Rwenzururu Baritazare Kure Benson agambye nti mu kiseera kino bali mukwezza Buggya, nti era  baasazeewo okutalaaga eggwanga nga basisinkana abakulembeze ab’ennono okwebuuza n’okukoppa byebakola babayigireko.#

Bisakiddwa: Nakato Janefer