Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abakulembeze abakwanaganya ennono za Buganda mu  Ankole ne Kigezi ,okuyamba ennyo abantu b'Omutanda obutava ku Buwangwa n'Ennono , nga  bannyikiza Olulimi lwabwe wadde nga bali wala negyebasibuka.
[caption id="attachment_49417" align="alignnone" width="702"] Okulayiza abakulembeze b'ennono za Buganda mu Ankole ne Kigezi mu 2026[/caption]
Katikkiro era abawadde amagezi okwetegekera emikisa gy'enkulakulana egijja mu buweereza obwenjawulo omuli eby'obulimi, amakolero, n'ebirala, ate babikozese bulungi okwekulaakulanya.
Katikkiro abadde yetabye  ku mukolo gw'okutuuza n'okulayiza abakulembeze b'Egombolola Omusanvu ezikola essaza Ankole ne Kigezi ogubadde ku Hotel Triangle mu Kibuga Mbarara.
Abakulembeze abalayiziddwa kubaddeko Omuk.John Kalibbala amyuka Owek. Mutaasa Kafeero, saako abakulembeze abalala abatwala  Mbarara,Ntungamo,Kaberebere,Mulema,Rugaaga,Ibanda ne Sheema.
[caption id="attachment_49422" align="alignnone" width="691"] Okulayiza abakulembeze b'ennono za Buganda mu Ankole ne Kigezi mu 2026[/caption]
Katikkiro agambye nti okunywereza abantu ba Kabaka mu Buwangwa n'Ennono kiba kitiibwa.
Ajjukizza Abaami nti Obukulembeze butambulira wamu n'ebisomooza, naabawa amagezi bakole ekisoboka okubivvuunuka, mu Kifo ky'Okubifuula Oluyimba.
[caption id="attachment_49430" align="alignnone" width="681"] Omukolo gw'okulayiza abakulembeze b'ennono za Buganda mu Ankole ne Kigezi mu 2026[/caption]
Minister wa government  ez'ebitundu Owek. Joseph Kawuki ,asabye abakulembeze b'ebitundu okwongera omutindo mu nkola y'emirimu, batambulire ku  mulamwa Obwakabaka bwegwatongoza ogwa Situla Omutindo.
Omwami wa Kabaka amukulembererako essaza Lye Ankole ne Kigezi Owek Hajji Hassan Mutaasa Kafeero yeebazizza Ssaabasajja olw'okufa ennyo ku bantube, naabalowoozaako mu nkulaakulana n'Ebyobulamu.
Bisakiddwa: Kato Denis