Abakyala mu Bwakabaka bwa Buganda  bakuzizza olunaku lwabwe,  neba okweyambisa tekinologiya akula buli kadde okwongera obuyiiya n’omutindo kwebyo byebakola, kibasobozesa okwongera okuvuganya mu katale ka Uganda.

Omukolo gubadde ku ssomero lya Beatrice Secondary School mu gombolola ya Mutuba Mwenda  Mulagi mu ssaza SSingo mu district ye Kyankwanzi.

Nnaabagereka Slyvia Naginda ku lunaku lw’abakyala mu Buganda 2025
Maama wa Buganda Nnaabagereka Slyvia Naginda  yabadde omugenyi omukulu, asibiridde  abakyala entanda okweyambisa obulungi technology w’essimu za seereeza okukola emirimu egyinaabayitimusa.
Mu ngeri yeemu  Nnabagereka ajjukizza abakyala okukimanya nti bankizo nnyo mu Buganda,  kyokka n’abasaba nti buli lwebaweebwa omukisa okubaako kyebakola basaanidde bakikole n’obumalirivu kibasobozesa okuvuganya n’abaami mu mirimu.
Minister wa Buganda ow’ekikula ky’abantu, bulungi bwa nsi, amazzi n’obutonde bwe nsi  Owek. Hajat Mariam Nassejje Nkalubo Mayanjaabuulidde Nnaabagereka nti abakyala mu Buganda  bayiiyizza ebintu bingi ebisobola okubawa ensimbi, wabula bakyetaaga okuweebwa ku magezi agekikugu basobole okulinnyisa ku mutindo.
Akulira abakyala mu ssaza Ssingo abakyazizza ebikujjuko by’omwaka guno Gaudancia Nalumbuye, asabye  NNAabagereka nti ng’ayita mu kitongole kye ekya Nabagereka development Foundation akwasizeeko amasaza mu kutegeka ebbanguliro naddala eri omwana omuwala.
Omwana wa ssabasajja kabaka alamula essaza singo mukwenda kajimu Deo naye asinzidde ku mukolo guno n’aloopera maama Nabagereka abakyala abagufudde omugano okwetundako ettaka naddala eryo lyebaba bafunye ng’omugabo ku byobusika, kyagambye nti kikonzibizza abakyala banji mu byenkulakulana.
Nnabagereka nga taneetaba ku mukolo gw’abakyala guno aliko ebintu ebyenjawulo byakoze omubadde okuggulawo ekizimbe galikwoleka ekituumiddwa Annina Haenny Block ku ssomero lya Beatrice secondary school,  alambudde abakyala abakolera mu  kibiina kyobwegassi ekya Pauline Juliet nga bano Nabagereka abawagidde n’ensimbi obukadde kkumi nga  ayita mu kitongole kye ekya Nabagereka Naginda Women Fund.
Alaambudde akaalo amatendo mu maka  g’omwami n’omukyala ba Tom Luzze ku kyalo Kabutemba, nga bano nabo  Nabagereka asazeewo okubasindikamu nga ayita mu kitongole kya Nnaabagereka Development Foundation n’ensimbi obukadde kkumi bongere mu byebakola naddala okulunda enkoko ennansi.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi