Abatuuze 2 bafudde ekiziyiro n'omulala addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka, oluvannyuma lw'okuyingiza essigiri mu nsisira mwebabadde basula.
Entiisa eno ebadde ku kyalo Kibikke ekisangibwa mu gombolola ye Butuntumula mu district ye Luweero.
Abafudde ye Grace Nalubwama 43 ne mwannyina Richard Nsobya 35, ate mukyala we Saida Nabbanja asimattuse bonna babadde batuuze be Kyambogo, wabula babadde bagenze mu Kibikke ewali ennimiro yabwe gyebabadde baagenda okulima ebijanjaalo.
Kigambibwa babadde baakumye essigiri okubugumya ebibanjaalo nebajiyingiza mu nsisira mwebabadde basula, okukakana nga 2 basirikiddemu olw'ekiziyiro ate omulala n'asimattuka n'ebisago ebyamaanyi ddala.
Wabula waliwo n'amaloboozi amalala agagambibwa nti eddagala lyebakozesa okufuuyira lyandiba nga lyeribaleetedde okufiira mu nsisiira y'ettundubaali mwebabadde basula.
Omwogezi wa police mu kitundu ekyo.m Sam Twinamazima agambye nti bakwongera okunoonyereza okuzuulira ddala ekibasse, nti kubanga waliwo abanonooza nti bandiba nga bafudde butwa.#
Bisakiddwa: Taaka Conslata