Abesikoopi mu Uganda mu kibiina ekya Uganda Episcopal Comfrence basitudde okwolekera ekibuga Vatican e Roma mu ggwanga lya Italy, ku Lugendo olutongole olubeerawo buli myaka etaano. Mu lugendo luno Ab’episikoopi munsi yonna  bakuηηaanira Vatican  okwegayirira n’okulamaga ku Malalo ga Batume  Petero ne Paulo. Okusinzira ku   Nnaambika y'eklezia Abasumba  bakusisinkano Omutukuvu  Papa Leo XIV okuwa Alipoota  ku ntambuza y’emirimu  mu Masaza g’Eklezia g’ebakulembera saako  okukubaganya ebirowoozo ku mirimu gy’obutume gyebaliko. Olwaleero Abepisikoopi 18 okuva mu Uganda basiimbudde   mu kiro ekikesezza olwaleero nga 14 March,2026 okugenda Vatican okwegatta ku banaabwe abaabasokayo. Olukiiko lw'Abepisikoopi mu Uganda lukubirizibwa Omusumba w'e Kiyinda Mityana Rev.Anthony Zziwa. Rev Fr.Phillip Ngendo nga asinzira e Roma  ategezeezza nti okulamaga kuno kwa Nnono mu ekeleziya era waliwo bingi ebigenda okukolebwa abepisikoopi . Bisakiddwa: Ssebuliba Julius