Government ereese enteekateeka y’abayizi bonna abali mu S.6 okwetoloola eggwanga lyonna okutwalibwa ku ttendekero ly’obukulembeze erya  National Leadership Institute e Kyankwanzi okutendekebwanga mu  ngeri  y’okwagala eggwanga lyabwe .

Enteekateeka eno esuubirwa okutandika omwaka guno 2024.

Okuva ku kkono .Headmistress wa Gayaza High School Robinah Kizito ne Commissioner Hellen Seku

 Hellen Seku, Commissioner avunaanyizibwa ku kukubangula abakulembeze agamba nti abayizi bakutendekebwanga okumala ebbanga lya myezi esatu.

Hellen Seku 

Commissioner Hellen Seku agambye nti bali mu nteekateeka  y’okuwandiikira Minister w’ebyenjigiriza n’emizannyo ,saako abakulembeze mu District ezenjawulo okutuukiriza enteekateeka eno.

Abayizi ba Gayaza High School abatendekeddwa okwagala ensi yabwe

 Seku  ategezeza nti  bakusomesa abiyizi ebintu by’enkulaakulana Saako okubawa obukugu bwebasobola okukozesa okufuna ensimbi, okulwanyisa enguzi n’okukuuma obutonde bw’ensi.

Seku  abadde ku ssomero lya Gayaza High school ku mukolo abayizi abamaze ennaku taano nga batendekebwa n’abakulembeeze baabwe nga booloose byebakola.

Alabudde abayizi abali mu luwummula okubeera abegendereeza mu bitundu gyebagenze ,obutenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.

Omukulu w’essomero lya  Gayaza High School Robinah Kizito agambye nti okutendeka abayizi mu nteekateeka eno kwetaagisa ensimbi enkumu nasaba abakulu okuyambako asomero.

Bisakiddwa: Betty Zziwa