Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde olukiiko olugenda okuteekateeka emikolo gy’okujjukira  Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II og’omulundi ogwa  31, gakubaawo nga  nga 31 July 2024.

Olukiiko lukulemberwa Owek. Dr. Anthony Wamala Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, amyukibwa Owek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka.

Ba Memba abalala Kuliko Owekitiibwa Noah Kiyimba Minister wa Cabinet na Abagenyi, Minister wa Gavumenti ez’ebitundu   Owekitiibwa Joseph Kawuki, Omukungu Josephine Nantege  Ssemanda  omuwandiisi ku Lukiiko luno, Kaggo Ssaalongo Hajji   Ahamed Magandaazi Matovu , Joseph Mugaga, Omukungu David Ntege ne  Captain Cristopher   Lutwama.

Bwabadde atongoza olukiiko luno mu Bulange e Mengo, omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo, agambye nti wadde nga Ssaabasajja mukosefumu, waliwo bingi ebituukiddwako mu myaka gino okuva lweyazza Engoma, era Obwakabaka bulina okujaguza n’okwenyumiririza mu mirimu gye.

Agambye nti  Amatikkira g’omulundi guno, gaakutambulira ku mulamwa, “Obumu bwaffe, ge maanyi ga Nnamulondo”

Agambye nti ne ku mulundi guno, amatikkira ag’omulundi guno gajja kubeeramu okusabira Ssaabasajja Kabaka mu masinzizo ag’enjawulo, ng’okusaba okw’okuntikko kwakubeerawo nga 31 July,2024  mu Lutikko e Namirembe.