Sipiika wa parliament ya Uganda Anita Annet Among  era nga ye mubaka omukyala owe Bukedea alangiriddwa ku kifo ky’omukyala amyuka ssentebe wa NRM, ku lukiiko lwa Central Executive Committee ( CEC).

Among awangudde Rebbecca Kadaga abadde mu kifo kino okuva mu 2010, era nga yamuwangula ne mu kalulu ka sipiika wa parliament eye 11.

Okulonda kubadde mu kisaawe e Kololo, ewatudde ttabamiruka wa NRM owa 2025.

President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asisinkanye Rebecca Kadaga ne Anita Annet Among oluvannyuma lw’akalulu akawanguddwa Among ng’omukyala amyuka ssentebe wa NRM

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM alangiridde Among n’obululu 11,680 nga bukola ebitundu 92% eby’abakubye akalulu, ate Kadaga afunye obululu 902 bye bitundu 7.2%.

Abalonzi babadde 12,582.#