Baminister ba Uganda mu kisanja ekiggya ekya 2026/2031 bakubye ebirayiro okuweereza eggwanga, ku mukolo ogutegekeddwa mu maka g'obwapresident Entebbe.
Omumyuluka wa President Retired Maj.Jessica Alupo ne Ssaabaminisita wa Robinah Nabbanja bebasoose okukuba ebirayiro,  olwo neba minister abalala nebagoberera.
Ba minister abajjuvu abamanyiddwanga ba cabinet ministers bali 30  ate ababeezi bali 51.
Ebirayiro bino babikubye mu maaso g'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Bakubye ekirayiro eky'okukuuma okunyweeza n'okulera ssemateeka wa Uganda, saako ekirayiro eky'okubeera abawulize eri omukulembeze w'eggwanga n'omuntu anaamuddira mu bigere, awamu n'ikukuuma ebyama by'eggwanga.
Omumyuka wa President Rtd.Maj.Jesca Alupo yasoose okukuba ekirayiro, nekuddako Ssaabaminister Robinah Nabbanja olwo abalala nebagoberera.
Waliwo ba minister 4 abatalayidde nga bakyanoonyerezebwako, ku bigambibwa okuba nti balina obutuuze mu mawanga amalala tebalayidde.
Kuliko Calvin Ochodu,Shartis Kuteesa, Adonia Ayebare ne Dr.Lawrence Muganga.
MInister w'ebyenjigiriza n'eby'emizannyo era First Janet Kataha Museveni ye tabaddeewo.
Ba minisiter abalayiziddwa, balagiddwa okugenda e Kyankwanzi okubangulwa ku buweereza obuboolekedde, era ng'okutendekebwa kuno kutandika nga 14 June,2026.
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, bwabadde ayogerako eri ba ministerbano,  agambye nti wakwogerako gyebali e Kyankwanzi ne ku Thursday nga 11 June,2026, mukusoma embalirira y'eggwanga.
Bbo ba minister 28 abaawumuziddwa naabo abakyusiddwa nebatwalibwa mu ministries endala balagiddwa okuwaayo offiisi ezo obutasuka wiiki eno.
Akulira abakozi ba government era nga ye muwandiisi omukulu ow'olukiiko lwaba minister Lucy Nakyoobe alagidde abatessitessi abakulu mu ministries zonna okukola enteekateeka okulondoola enteekateeka eyo mu bwangu, kisobozese ba minister abamaze okulayira okutandika emirimu gyabwe.#