Omuzira 2024: Nanteza Grace

Omuzira: Nanteza Grace aweza egy’obukulu  52, mutuuze w’e Maanyi mu Busujju, mulimi wa buli kirime.

Yeddira Ffumbe.

Azaalibwa abagenzi; Ssengendo Francis ne Nakacwa Rose abaabeeranga e Buwalantaama Busiro.

 

Omuzira 2024: Ssemiyingo Ibrahim

Omuzira: Ssemiyingo Ibrahim, wa myaka 27, yeddira Nte, asibuka Kakuuto-Kyotera Buddu.

Azaalibwa Ssaalongo Ssemiyingo Asuman ne Nnaalongo Nagaddya Yudaaya.

Yasoma essomo lya Development Economics okuva e Makerere University.

Omuzira 2024: Miyingo Misearch

Omuzira: Miyingo Misearch wa myaka 39, yeddira Nte, abeera Lwentulege Kkooki.

Azaalibwa abagenzi; Balengera Edon Kamu Mbajo ne Nakago Mmeere.

Mulungamya wa mikolo.
Ayagala nnyo okunoonyereza.

 

Omuzira 2024: Kafeero Paul

Omuzira: Kafeero Paul wa myaka 34, yeddira Nkima asibuka Bisanje Kyotera Buddu.

Musuubuzi.

Azaalibwa abagenzi Kiggundu John ne Naddumba Jascent.

Ayagala nnyo okuweereza mu Eklezia era muyimbi mu Choir ya Holy year Choir Kyotera Parish.

Abazira abalala ye Kalyango Farouk.

Yeddira Ngo.

Ava mu ssaza Bugerere.

 

Omuzira Omulala ye Kizito John Lukoma

Yeddira Mmamba.

Yeddira Mmamba.

Omuzira mu bazira w’Entanda Diaspora 2024 George William Kizito.

Muzzukulu wa Nankere, yeddira Mmamba.

Emirimu gye agikolera Qatar

Bamuzaala Kamenyamiggo Bukomansimbi mu ssaza Buddu.#