Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll mu bubaka bweyaweerezza bannabulemeezi yabakubirizza okijjumbira okwekebeza endwadde ezenjawulo babeere balamu.
Ssaabawolereza wa Buganda Owek.Christopher Bwanika yaggaddewo olusiisira.
Owek.Bwanika akubirizza abantu okuteeka mu nkola byebasomeseddwa mu lusiisira luno Olw'ebyobulamu, okusitula omutindo gw'ebyobulamu bwabwe.
Anokoddeyo okwewala endwadde nga bakuuma obuyonjo, okwekebeza,okwettanira enkola ya Insurance y'ebyobulamu gy'asabye abantu okugyettanira olw'okwerinda embeera yonna eyinza okugwawo ku by'obulamu bwabwe.
Dr.Magera Steven yaakulira ebyobujjanjabi mu district ye Luweero,agamba nti olusiisira luno luyambye nnyo abantu ba Kabaka mu bitundu ebyo , naddala ababadde batawaanyizibwa endwadde nga Puleesa, Ebifuba mu Baana,Ssukaali, Hernia nendwadde endaga nnyingi.
Ssaabasajja Kabaka yatongoza enteekateeka ya Tubeere Balamu nga 30 October, 2024 n'ekigendererwa eky'okusitula embeera z'abantu be abatesobola naddala mu by'obulamu.
Mulimu okwekebeza endwadde, okugemebwa, n'okujjanjabibwa, era yakabunyisibwa mu masaza 6, era obujulizi buzze buweebwa okuva mu bantu abaganyuddwa.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk.Kaggwa Ndagala agambye olusiisira oluddako lugenda kubeera mu ssaza Buweekula nga 23 ne 24 April,2026.#
Obubaka bw'Omuteregga bwetikkiddwa Nnaalinnya Dina Kigga, era yeyagguddewo olusiisira luno.
Abantu basomeseddwa ku by'obulamu n'okujjanjabibwa endwadde ez'enjawulo awatali kusasula nsimbi.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment