Government ya Uganda etenderezza emirimu egyakolebwa munnabyabufuzi eyali Ssaabaminister wa Kenya omugenzi Babatinga Raila Amolo Odinga mu kutabakanira emirembe n'enkulaakulana ya Africa okutwaliza awamu.   Jaramogi  Agwambo Raila  Odinga  yafa nga 15 October,2025 e India gyeyali agenze okujjanjabwa, yaazikibwa e Bondo mu Ssaza Siayaya e Kenya.   President wa Uganda   General Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa mu bubaka bwatisse Sabaminister Robina Nabbanja, mu kusaba kwokujjukira Raila Odinga ku All Saints Cathedral e Nakasero, Museveni ategezeezza nti Odinga yazanya ebyobufuzi  ebyamwoleka ng'omusajja eyali tagenderera kwekussa, wabula  okulwanirira ensi ye ne Africa yonna   Katikkiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga mu bubaka obumusomeddwa  Minister we Bizimbe n’Ettaka mu Bwakabaka ,Owek. David Fk Mpanga, Katikkiro agambye nti Raila Amolo Odinga yalwanirira nnyo obwenkanya, era Mungeri egyenjawulo amwebazizza  okuwagira emirimi gyobwakabaka. Agambye nti mu ngeri yeemu Odinga abadde mukwano gwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, era ng'enfunda eziwera abadde amukyaliko e Kenya, atene Odinga najja mu Buganda naakyalirako Kabaka.   Bwabadde akulembeddemu Okusaba  kuno Sabalabirizi  w'ekkanisa ya Uganda  Dr. Samuel  Steven Kazimba Mugalu ayogedde ku Raila Odinga ng'omusajja eyalwanirira ennyo emirembe enkulakulana ya saamazinga Africa.   Omubaka wa Kenya Joash Mwangi nga akiikiriddwa David Kabata   yebazizza Uganda olwenkolana ennungi gyelina ne Kenya mu nsonga ez'enjawulo.   Captain Mike Mukula nga abadde munywaanyi wa Raila Odinga  agambye nti Odinga yakola nnyo okutabaganyanga enjuyi ezaalina nga obutakkanya naddala mu byobufuzi.   Okusaba kuno kwetabidwako abakungu okuva mu government ya Uganda ne Kenya, banadiini banabyabufuzi n'abalala bangi. Bisakiddwa: Ssebuliba Julius