Ettendekero ly’Obwakabaka erya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education lijaguzza emyaka 25 bukyanga litandikibwawo mu 1999, nga lifulumya abavubuka abasobola okwetandikirawo emirimu.

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwe yasiima abavubuka batandike okubangulwa mu mirimu gy’eby’emikono, baweebwe obukugu okusobola okukyusa embeera zaabwe nga baliko bye bakola.

Nnaalinya Sarah Kagere abadde omugenyi ow’enkizo ku mukolo guno atenderezza enkulaakulana etereddwawo mu bbanga ery’emyaka 25, era yeebazizza Katonda olw’ebijaguzo bino okutuukira mu kiseera ng’Obuganda bujjukira emyaka 31 nga Kabaka Mutebi II atudde ku Nnamulondo, era asabye Katonda ayongere okussuusa Maasomoogi addemu okukola emirimu gye obulungi.

 

Nnaalinya  yebazizza buli alina kyakoze okufuula etendekero lino ery’ensonga mu ggwanga lyonna.
Mu butongole Nnalnnya agguddewo ne Wankaaki azimbiddwa ku tendekero lino, n`okusimba omuti ogwekijukizo.
Nnaalinnya Sarah Kagere ng’akwasa minister Owek.J.C Muyingo ekirabo
Abantu ab’enjawulo basiimiddwa olw’ebyo bye bakoze mu lugendo luno era nebaweebwa n’ebirabo.
Owek. Christopher Bwanika Ssaabawolereza wa Buganda ng’akwasa ekirabo eri Owek. Anthony Wamala minister w’eby’obuwangwa, embiri, n’obulambuzi, era nga yaliko ssenkulu wa Buganda Royal Institute of Business and Technical Education
Mu bubaka bwa Katikkiro obusomeddwa Ssaabawolereza wa Buganda Owek Chrispher Bwanika, agambye nti Buganda Royal Institute ng`oggyeko okuba nti etendese abayivu abasobola okwetandikirawo emirimu, naye era eyambye nnyo okukwasizaako abetaaga okusoma naye nga tebalina busobozi.
Asabye abakulembeze b’ettendekero okulowooza ku kutandikawo ekifo ewatundirwa ebimu ku bintu ebikolebwa abayizi.
Minister Omubeezi ow’amatendekero agawaggulu mu ggwanga JC Muyingo, era nga ye yali Minister w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka ettendekero lino weryatandikira, agambye nti nga government eya wakati bebaza Ssaabajja Kabaka olw`okubakwazizako okubangula abaana be ggwanga, ate nga babawa obukugu obubasobozesa okwetandikirawo emirimou, n’okulwanyisa obwavu n’obutamanya.
 Asabye nti abayizi bamanyisibwe emikisa egy’enjawulo egiri mu government wamu n’okuyigirizibwa engeri y’okutunda ebyo bye bakola.
Minister w’ebyenjigiriza, eby`Obulamu era avunanyizibwa ku office ya Nnaabagereka Owek Cotlida Nakate Kikomeko, agambye nti Obwakabaka bukyagenda mu maaso n`okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga.
Ssenkulu w’ettendekero lya Buganda Royal Institute Owek Joseph Balikudembe Ssenkusu, yeyanziiza nnyo Bbeene eyasiima natandikawo etendekero lino.

Owek. Joseph Ssenkusu Balikuddembe alaze bye batuuseko mu myaka 25 egy’ettendekero omuli okuba nga bafulumizza abayizi abatikiddwa abali mu 12,000 nga babanguddwa ku ttendekero lino ate nga ba mugaso ddala.

Yeebazizza bonna abaddewo okulaba nga bino bituukibwako, asiimye nnyo obwesige bw’abayizi abayise mu ttendekero wamu n’abazadde, era asuubiza nti ate bingi ebikyakolebwa mu bbanga eriddako.

Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze bangi ddala okubadde Omulangira David Kintu Wasajja, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Mugumbule, ba minisita okuva mu gavumenti ya Kabaka, eyaliko Ssenkulu era Minisita kati Owek. Anthony Wamala, , Pulofeesa Kakumba Umar, Owek Israel Kazibwe Kitooke , Owek. Cotilda Nakate kikomeko, Oweek. Mariam Mayanja, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, Minister w’abavubuka  eyawummula, Abataka b’Obusolya, Abakulu b’ebitongole, Bannabyafuzi, abayizi abaasomerako mu ttendekero n’abakungu abalala

Bisakiddwa: Musisi John