CBS FM
Cbs@29 – abakozi ba CBS bakoze bulungi bwansi mu katale k’e Kibuye
Namubiru Juliet
June 12, 2025
8:52 AM
Ng’emu mu nteekateeka y’omwoleso gwa CBS Pewosa Nsindikanjake, n’okujaguza emyaka 29 egya CBS Radio, abakozi ba Cbs beetabye mu kaweefube w’okukola bulungi bwansi okwetooloola akatale ka Ssaabasajja Kabaka ake Kibuye, okukuuma obuyonjo n’okutaasa obutonde bw’ensi nga bakuηaanya obuveera n’obucupa. Abakozi ba CBS begattiddwako aba kampuni ekola eby’okulya eya Sams ne Uganda Redcross. Omwoleso gwa CBS […]
Ng’emu mu nteekateeka y’omwoleso gwa CBS Pewosa Nsindikanjake, n’okujaguza emyaka 29 egya CBS Radio, abakozi ba Cbs beetabye mu kaweefube w’okukola bulungi bwansi okwetooloola akatale ka Ssaabasajja Kabaka ake Kibuye, okukuuma obuyonjo n’okutaasa obutonde bw’ensi nga bakuηaanya obuveera n’obucupa.

Abakozi ba CBS begattiddwako aba kampuni ekola eby’okulya eya Sams ne Uganda Redcross.
Omwoleso gwa CBS Pewosa Nsindikanjake gutandika nga 17 – 22 June,2025, mu lubiri lwa Kabaka e Mengo.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment