Abamu ku bakulembeze mu Kibuga Kampala banirizza enteekateeka eyanjuddwa Loodi Meeya Elias Lukwago  okuddabiriza n’okuzimba ebitebe by’e ggommbolola   ezenjawulo ezikola ekibuga mu mwaka gwebyensimbi ogujja  2024/2025.

 Loodi  Meeya wa  Kampala Ssalongo Elias Lukwago yabadde ku City Hall
KCCA ng’ayanjula ebigenda okutekebwako essira,   yategezeezza nti  bakudaabiriza  wofiisi za Lood Meeya ku City Hall  ,   okuddamu okuzimba  ekitebe  kye ggombolola e Kawempe , okuzimba ekitebbe ky’eggombolola ye Nakawa n’e ggombola ya Kampala Central.

Lukwago yategeeza nti ebizimbe omukolebwa emirimu bikaddiye ebitagambika nga n’egombolola ezitalina bitebe bitukaanye namutindo ekiseera kituuse  zifune ebizimbe  eby’omulembe   okwanguya emirimu mu kibuga n’okutuusa obuweereza ku banaKampala.

Agamba nti ebitebe by’egomboloka bikaddiye nga n’ebimu tebikyayinza kutuuza  muwendo gw’abantu bawera, songa abantu abakolera emirimu ku bitebe bino beyongera buli lukya.

 Mayor we Gombolola    Kawempe  Dr . Emmanuel Sserunjogi Oweddembe ategezezza nti amagombolola getaagira ddala okuzzibwa obuggya gatuukane n’omulembe gw’ekibuga, omuli okutereeza wofiisi  z’abakulembeeze  ,enguudo, n’ebirala  nti kubanaga bana Kampala bawa omusolo mungi nga batekeddwa okuguganyulwamu

Sipiika w’olukiiko lwe ggombolola ye Nakawa Godfrey Luyombya Kabali   ategezeeza nti bafuna okusomosebwa olw’obutabeera nabizimbe ekikalubya emirimu mingi, omuli n’okutuuza enkiiko za ba kansala mu woteeri zebasasulira ensimbi empitirivu.

Luyombya asabye abakulu ekyokubazimbira ekitebe kireme kukoma mu bigambo wabula kiiteekebwe mu nkola.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius