Mu mupiira guno ddiifiri agabye kaadi emyufu 3, nga 2 zibadde za South Africa ate emu ebadde ya Mexico.
Goolo eziwadde Mexico obuwanguzi ziteebeddwa Julian Quinones ne Raul Jimenez, era Julian Quinones yaalondeddwa ng'omuzannyi asinze banne mu mupiira guno.
Oluvanyuma lwómupiira ogugguddewo wakati wa Mexico ne South Africa, omupiira oguzzeeko okuzannyibwa gubadde wakati wa South Korea ng'ettunka ne Czech Republic.
South Korea evuddeko mabega okuwangula Czech Republic goolo 2-1.
South Korea omupiira egwefuze ebitundu 62% ate Czech Republic ebitundu 38%.
Empaka zino zitegekeddwa amawanga asatu America,Mexico ne Canada, era gwe mulundi ogusookedde ddala nga gutegekebwamu mbeera eno.
Empaka zino za mulundi gwa 23 nga zitegekebwa.
Amawanga 48 gegavuganya mu mpaka z'omwaka guno 2026,nga ssemazinga Africa akiikiriddwa amawanga 10.
Zaasooka kutegekebwa mu 1930 mu Uruguay era ne baziwangula.
Brazil yekyasinze okuwangula empaka zino emirundi 5, Germany ne Italy emirundi 4 buli emu, Argentina bannantameggwa bémpaka ezasembayo mu 2022 e Qatar bakaziwangula emirundi 3, France ne Urugauy emirundi 2 buli omu, olwo Bungereza ne Spain buli omu yakaziwangula omulundi gumu gumu.
Brazil lye ggwanga lyokka eryakakiika mu mpaka zino emirundi gyonna 23, ate nga Germany ye kyasinze okutuuka ku final emirundi emingi 8.
Empaka zino zizanyibwa buli luvanyuma lwa myaka 4, nga ssemazinga Africa yakazitegeka omulundi gumu 2010 e South Africa.
Emipiira gyonna gigenda kuweerezebwa butereevu ku CBS fm.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment