Batabani ba Kimbugwe ab’essaza Buluuli bawangudde aba Kaangaawo owe Bulemeezi mu mupiira ogw’ebigere ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2020.

Ggoolo ebadde 1 : 0.

Omupiira guno ogubadde ogwa kaasa meeme gubadde  mu Kisaawe e  Kasana Luweero.

Ggoolo emu yokka  ewadde Buluuli obuwanguzi eteebeddwa  Ssewanyana Robert  mu Ddakiika eye 17   mu kitundu ky’omuzannyo ekisooka.

Bulemeeze ye Nnantameggwa w’omupiira ogw’ebigere gw’amasaza ga Buganda ogwa 2023.

Katikkiro Charles Pater Mayiga oluvanyuma lw’omupiira guno yebazizza Esaza Bulemeezi olwokutegeka omupiira ogwekitiibwa.

Katikkiro Mayiga atenderezza Omutindo ogwoleseddwa  abazannyi mu mupiira  nti guwa essuubi mu bye mizannyo by’eggwanga.