Ebivudde mu mipiira ogw’ebigere egy’ebika by’abaganxa egy’okuddingana nga 05 May, 2024, bazzukulu ba Gabunga abeddira e Mamba besozze omutendera gwa ttiimu 32 bwe bawandudemu e Nkerebwe ku mugatte gwa goolo 5-2.
Wabula olwaleero e Nkerebwe ekubye e Mamba Namakaka goolo 1-0, kyokka ng’oluzannya olwasooka e Mamba Namakaka yaluwangula goolo 5-1.
Mungeri yeemu Engabi Ennyunga nayo yesozze omutendera gwa ttiimu 32 bw’ekubye e Mpeewo goolo 4-3 oluvanyuma lw’okulemagana 0-0 mu mipiira gye basisinkanye.
Endiga eyiseewo nga ekubye e Nkusu goolo 1-0, era eyiseewo ku mugatte gwa goolo 3-0 kuba oluzannya olwasooka yaluwangula goolo 2-0.
Enjaza nayo eyiseewo nga ewandudemu e Kibe ku goolo 5-3 eza peneti.
Envubu nayo ewandudemu e Nsuma ku mugatte gwa goolo 2-1, nga olwaleero ekubye e Nsuma goolo 1-0 ate nga omupiira ogwasooka ttiimu zombiriri zaagwa amaliri ga goolo 1-1.
Emamba Kakoboza nayo eyiseewo nga ewandudemu Ngaali ku mugatte gwa goolo 2-1, nga oluzannya olwasooka yaluwangula goolo 2-0 ate olwaleero ekubiddwa Ngaali goolo 1-0.
Mungeri yeemu Akasimba yiseewo ku mugatte gwa goolo 3-1, nga oluzannya olwasooka Akasimba kawangula goolo 3-0 ate nga olwaleero bakubiddwa goolo 1-0.
Ebika ebiyiseewo okugenda mu mutendera oguddako ogwa ttiimu 32, ogutandika nga 10 May,2024.
1. Kasimba
2. Mmamba Kakoboza
3. Nvubu
4. Njaza
5. Ndiga
6. Mmamba Namakaka
7. Engabi ennyunga
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment