Abakristu mu nsi yonna lwebatandika Ekisiibo kya Kalema, ekikulemberamu Eky'amagero ky'okubonaabona, Okufa n'Okuzuukira kwa Yezu Kristu.
Ekisiibo kino ekimanyiddwa nga "Ennaku za Kalema" kimala ennaku 40, olwo nekikomekkerezebwa ku Lwokutaano Olutukuvu, nga bwebalindirira Ppaasika.
Omwaka guno 2026, Ppaasika yaakukuzibwa nga 5 April.
Ekanisa ya Uganda erambise ku kisiibo

Mu ngeri yeemu Ekkanisa ya Uganda, ewabudde abakulisitaayo okukulembeza enkola ey’okusonyiwagana mu kisiibo kino.

Ekkanisa ya Uganda egamba nti eggwanga embeera gyeririmu, yeetaga obumu nókwagalana naddala mukiseera kino ng’eggwanga lyakava mu bisago by’okulonda.

Omulabirizi we Mityana, Ssalongo Rev. Dr. James Bukomeko, awabudde abakkiriza okukozesa ekisiibo kino, okuzza emitima gyabwe eri katonda.

EKisiibo ky'abagoberezi ba Kristu n'eky'Abaddu ba Allah ekya Ramathan kitandikidde ku lunaku lwe lumu, olwa nga 18 February,2026.