CBS FM
FDC etongozza enkola y’okuwandiisa ba memba okuyita ku mutimbagano – yakumanya buli omu oludda lwaliko
Namubiru Juliet
August 24, 2024
7:43 PM
President wa FDC eye Najjanankumbi Patrick Amuriat atongozza enkola ey’okuwandiisa ba memba ba FDC okuyita ku mutimbagano. Enkola eno agitongolezza mu kibuga Jinja, ewakungaanidde banna FDC abazze mu bungi ddala. Mukusooka wabaddewo akanyoolagano mu kibuga, police netuuka okukuba amasasi mu bbanga okubalemesa okuyita mu kibuga wakati. Sabawandiisi wa FDC Nandala Mafabi asekeredde bannaFDC ekiwayi kye […]
President wa FDC eye Najjanankumbi Patrick Amuriat atongozza enkola ey’okuwandiisa ba memba ba FDC okuyita ku mutimbagano.
Enkola eno agitongolezza mu kibuga Jinja, ewakungaanidde banna FDC abazze mu bungi ddala.
Mukusooka wabaddewo akanyoolagano mu kibuga, police netuuka okukuba amasasi mu bbanga okubalemesa okuyita mu kibuga wakati.
Sabawandiisi wa FDC Nandala Mafabi asekeredde bannaFDC ekiwayi kye Katonga nti abaagala okusanyaawo FDC, nagamba nti tebagenda kumalako.
Bisakiddwa: Kirabira Fred
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment