Okusinziira ku minister w'ensonga za president Milly Babalanda mu bubaka bwatadde ku kibanja kye ekya X , omukulembeze w'eggwanga alagidde nti Bitamazire aziikibwe mu bitiibwa by'eggwanga,mu nkola emanyiddwanga official burial okusiima emirimu gyeyalolera eggwanga.
Geraldine Namireme Bitamazire abadde munna byanjigiriza era munna byabufuzi nga yaliko minister weebyenjigiriza wakati woomwaka gwa 1970 okutuusa mu 1980, ne mu mwaka gwa 2005 okutuusa mu 2011.
Yakiikirirako district ye Mpigi mu parliament wakati wa 2001 okutuuka mu 2011.
Munnabyanjigiriza Ono Geraldine Namirembe Bitamazire Yaliko seenkulu wa Uganda Management institute UMI
Omugenzi yoomu kubaataandika ekitongole ki Forum for African Women Educationists, ekirwanirizi ky'eddembe ly'abaana abawala mu byenjigiriza ku lukalu lwa Africa.
Yasomera ku Trinity College Nabbingo, nagenda e Makerere mu mwaka gwa 1964 natikkirwa diploma mu byenjigiriza, era naddayo mu mwaka gwa 1967 ne mu 1987 nafuna degree esooka neeyokubiri mu byenjigiriza.
Omugenzi Geraldine Namirembe Bitamazire, yazaalibwa nga 17 July, 1941, yafudde nga 15 January,2026 ku myaka 84 egy'obukulu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment