Government y'ebyentambula n'enguudo eyimirizza bus za kampuni ya Nile star bus Ltd okumala ennaku amakumi 30, nga tezisaabaza bantu okwetoloola eggwanga okutandika n'olunaku olwa leero nga 06 May,2026.
Ekkoligo lino livudde ku  kabenje ddeka busa akaaggudde mu district ye Nwoya gyebuvuddeko, bus ya Nile star  bweyayingirira  lukululana okukakkana nga abantu 7 baluguzeemu obulamu.
‎Bino byanjuddwa minister omubeezi avunanyizibwa ku by'emirimu mu Ministry y'ebyentambula n'enguudo Fred Byamukama, mu lukuηaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku woofiisi ye mu Kampala.
Akabenje kano kaaliwo mu kiro ekyakeesa ku  Monday ya nga 04 May,2026,Bus ya Nile star No.UBP 736U  yatomeragana ne loole  eyali eva mu ggwanga lya Sudan No. SSD 040A ne  SSD 498C ku kyalo Lapok Mor mu district ye Nwoya okukakana ng'abantu 7 bafiiriddewo songa  abalala bakyapookya n'abisago.
‎Minister Fred Byamukama agamba nti Okusinziira ku alipoota ya police, kampuni ya Nile Star Bus mu bbanga lya mwaka gumu ekoze obubenje kumi nakamu (11),  obufiiriddemu abantu 56 songa 91 banyiga biwundu.
Eyali omugoba wa bbaasi eno eyakola akabenje amanyiddwa nga Abugo Mandela Kassim ow'emyaka 64 bakizudde nti aludde ng'akola obubenje mu kampuni za bbaasi ez'enjawulo, era  Minister agambye nti ddereeva ono ssiwaakukkirizibwa kuddamu kusaabaza bantu.
Minister Byamukama era alagidde banannyini bus za Nile star okuleeta ba dereva baabwe, nebiwandiiko kwebaafunira emirimu saako n'obumanyirivu bwabwe, nga ne mitendera kwebafunira Licence ategeezezza nti gigenda kumyumyulwa.
‎Mungeeri yeemu minisita Byamukama alagidde abakulu mu kampuni eno eya Nile star bus limited okuliyirira bamulekwa n'abenganda z'abagenzi abaafiira mu Kabenje ke Nwoya.
Bisakiddwa: Nabagereka Edithie