Abakulembeze okuva mu bibiina ebiri ku ludda  oluvuganya government ya Uganda batadde omukono ku kiwandiiko ekisindikirizza government okuyimbula Col Dr Kiiza Besigye ne munne  Hajji Obeid Kamulegeya  abawerenemba n’omusango gw’okusangibwa n’emmundu wamu n’amasasi.

Kigambibwa nti Dr.Besigye ne Hajji Kamulegeya nga 16 November 2024 baawambibwa  okuva mu Kenya nebaleetebwa mu kkooti ya maggye e Makindye,  eyabasindika ku alimanda e Luzira okutusa olunaku olwenkya nga 10 December,2024.

Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku Parliament,abakulembeze ku ludda oluvuganya government banjudde ekiwandiiko kyebataddeko emikono nga kirimu ensonga 5, omuli okuvumirira ebikolwa ebityoboola eddembe lyobuntu, okuvumirira engeri Besigye ne  Obed Lutale gyebaakwatibwamu okuva mu Kenya,Okukomya okuwozesa  abantu ba bulijjo mu kooti y’amagye n’ensonga endala.

President w’ekibiina kya Nup Robert Kyagulanyi Ssentamu ku lwa National unity platform agambye nti ayagala emisango egyateekebwa ku Dr Byesigye ne Obed Lutale Kamulegeya gibagibweko mu bwangu oba sikkyo badizibweyo mu kooti eziwozesa emisango gyabantu babulijjo

Munnamateeka wa Col Dr Kizza Besigye Lord Meeya Ssalongo Elias Lukwago agambye nti okuwozesa abantu babulijjo mu  kkooti y’amagye kimenya ssemateeka w’eggwanga.

President w’ekibiina kya ANT General Mugisha Muntu agambye nti engeri gyebaakwatamu Col Kizza Besigye eyolese okutya noobutiitiizi obuli mu bitongole byeby’okwerinda mu ggwanga, era kiraga ekifananyi ekibi eri amawanga amalala.

Olukungaana luno lwetabidwaamu Banabyabufuzi abarala okuli eyal8omubaka wa lubaga south  Ken Lukyamuzi, Akulira oludda oluwabula government mu Parliament Joel Ssenyonyi Basekezzi, Winnie Kizza, amyuka Lord Mayor Doreen Nyanjula, Sadamu Gayira Akulira ekibiina Kya PPP, nabalala.

Ebyo nga biri bityo,akakiiko ka Uganda Law Council kagaanye okuwa Munamateeka omugundiivu okuva e Kenya Martha Karua, ebbaluwa emukkirizza okuwolerezza Dr Kizza Besigye mu kkooti ya magye mu Uganda.

Karua yateekayo okusaba mu kakiko kano  ng’ayagala kamuwe ebbaluwa emukkiriza okuwolereza Col Kiiza Besigye  avunaanibwa omusango gw’okusangibwa ne mmundu mungeri emenya amateeka

Wabula olweleero akakiiko kano kagaanye okumuwa ebbaluwa eno ngakesigambye ku nsonga ezenjawulo.

Ensonga esooka kyeky`Omukago gwa East Africa okuba nga tegunateeka Mukono kundagaano ekkiriza abakozi okuva mu ggwanga erimu okudda mu ggwanga eddala.

Ensonga ey`okubiri kwekuba nti Uganda ebadde tefunaangako munnamateeka agya wano kuwoza musango ogw’obumenyi bw’amateeka oba okuba nga government yevunanana omuntu, nti ekyo aba Law Council balina kusooka kukyetegereza.

Ensonga endala, aba law council balumiriza Martha Karua okuba nti wiiki ewedde yetumiikiriza nagenda mu koooti nga tunafuna lukusa, ekikolwa ekyali eky`obumenyi bw’amateeka.

Wabula bannamateeka ba Dr  Kiiza Besigye nga bakulembeddwa Lord Mayor Erias Lukwago bawezze nkolokooto nti ketonye oba kagwake bagenda kukulembeza Martha Karua mu kuwoza omusango gwa Besigye lwakomezebwawo mu kooti.#