Abadde omubaka wa parliament omukyala akiikirira district ye Kalangala Hellen Nakimuli aziikiddwa ku kyalo Kayunga mu gombolola ye Kalagala mu district ye Luweero.
Nakimuli yava mu bulamu bw'ensi nga 19 April,2026, ku myaka 40 egy'obukulu, oluvannyuma lw'okwetwala mu ddwaliro alongoosebwe mu lubuto mu ddwaliro lya Alexandra Medical Centre mu Kampala wabula teyadda ngulu.
Bannauganda mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo bakungubagidde Nakimera, era nga bamwogeddeko ng'omuntu akoze ennyo mu kidanja ekimu kyabadde yakamala mu parliament ng'akiikirira Kalangala.
Yayingira parliament mu kalulu ka 2021 ku bendera ya NUP, era nga baabadde bamwongedde ekisanja mu kalulu ka 2026 wabula tasobodde kulayira kuyingira parliament eye 12.
Nakimuli yasoose kusabirwa ku Eklesia ya Orthodox  e Namungoona, mu kusaba okwakulembeddwamu Ssaabasumba Jeronious Muzeeyi, wabula yatendewaliddwa amaziga negamuyitamu ng'abuulira, era awo weyakomye.
Yayogedde ku Nakimuli ng'akoleredde eklesia ya Orthodox, era nga yekka owa Orthodox eyabadde asigaddemu parliament, oluvannyuma lwa Theodore Ssekikubo abadde ekiseera ekiwanvu ng'akiikirira Lwemiyaga, okuwangulwa mu kalulu akayise aka 2026.
[caption id="attachment_49573" align="alignnone" width="300"] Fr.Walusimbi taata wa Hellen Nakimuli ne Mulekwa Melanie Namirimu nga baganzika ekimuli ku ssanduuko omugalamiziddwa Hellen Nakimuli abadde omubaka omukyala owe Kalangala[/caption]
Rev. Father Christopher Walusimbi taata w'omugenzi era nga yaliko Kweba( omwami wa Kabaka akulembera Ssese)  asiimye abantu bonna abababeereddewo mu kaseera ak'okusomoozebwa, akubirizza abazadde okukuza abaana n'empisa nabasaba okuteeka mulekwa musaala.
Ku lw'Obwakabaka bwa Buganda, mu bubaka Katikiro bwattise minister owa Mawulire Israel Kazibwe Kitooke, busiimye nnyo Nakimuli olw'obuweereza bwe, n'okuwagira enteekateeka z'Obwakabaka zonna.
[caption id="attachment_49565" align="alignnone" width="300"] Abakiikiridde Obwakabaka bwa Buganda mu kuziika Hellen Nakimuli[/caption]
Katikkiro ayogedde ku Nakimuli ng'omukulembeze abadde Owembala, era omunyiikivu mu byabadde akola.

Amyuka sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa yasiinzidde mu eklesia e Namungoona, naawanjagira bannabyabufuzi okukomya eby'obufuzi eby'obukyayi n’okusiiga enziro.

Agambye nti okufa kwa Nakimuli kugasse ebibiina by’obufuzi byonna mu ggwanga,  ekitegeeza abadde ayagala banansi nga bali bumu

[caption id="attachment_49566" align="alignnone" width="300"] Ababaka ba parliament bazze mu bungi okuziika Omubaka omukyala,Hellen Nakimuli abadde akiikirira Kalangala[/caption]

Akulira oludda oluwabula government mu Parliament Joel Ssenyonyi asabye banna byabufuzi banne bulijjo okwogera ku nsonga eziruma bannansi, awatali kubatiiririra.

Abakulembeze be kibiina ki NUP nga bakulembeddwamu President wabwe ow'ekiseera Lina Zedriga, basoomoozezza ababaka ba Palamenti naddala abakyaala okutwaala Nakimuli nga eky'okulabirako mu nkola y'emirimu n'enneeyisa.
President  wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ng'ayita mu ddoboozi erizanyiddwa eri abakungubazi, atenderezza Hellen Nakimuli  olw'enkolagana enungi n'abantu, obwesigwa, emirimu gyakoledde ekibiina kwossa n'abantu babadde akiikirira abe Kalangala, ate n'okusigala ku mulamwa gw'enkyukakyuka.
[caption id="attachment_49567" align="alignnone" width="300"] Band ya police yekulembeddemu okuwerekera Nakimuli, saako abawagizi ba NUP abasitudde ssanduuko omugalamiziddwa Hellen Nakimuli[/caption]
Nga zikunukkiriza okuwera  essaawa kumi nabbiri, Nakimuli aziikiddwa, era bamukubidde emiziinga 3, ng'akabonero okussa ekitiibwa mu mirimu gye.#
Bisakiddwa Taaka Conslanta ne Lukenge Sharif