Ekitongole kya Kabaka Foundation kitongozza olusiisira lw’ebyobulamu olugenda okumala ennaku 2 mu Ssaza Busiro mu Gombolola ya Ssabagabo Nsangi ku St Joseph’s Catholic Church Kyengera.
Lugguddwawo Omumyuka owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa.
Owek Robert Waggwa Nsibirwa n’Owek.Cotilda Nakate Kikomeko

 Ssabasumba w’essaza ekkulu era Kampala Bishop Paul Ssemogerere agamba nti government ekyalina omulimu munene okutuusa obujjanjabi ku bantu , ng’eteeka eddagala eryegasa n’abasawo mu malwaliro.

Super Supreme Mufti Sheik Muhammad Galabuzi asinzidde ku mukolo guno naasaba government okubeerako ne byeyigira ku Kabaka atadde amaanyi kukujjanjaba abantu, okutuukira ddala wansi mu byalo.
Okuva ku ddyo,Ssaabasumba wa Kampala  Paul Ssemogerere, Super Supreme Mufti Sheik Muhammad Galabuzi, n’Omulabirizi  w’e Namirebe  Moses Banja
Omulabirizi w’e Namirebe  Moses Banja yeyanziza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusoosowaza ensonga z’ebyobulamu era asabye abantu okwekebezanga.
Okuva ku ddyo, Ssekulu wa Kabaka Foundation Kaggwa Ndagala, Ssaabasumba Paul Ssemorere ne Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza
Minister w’ebyobulamu mu bwakabaka Owek Cotilda Nakate Kikomeko agamba nti ensiisira zino zikolebwa nga zisimbibwa mu ssemasonga wa Buganda eyokuna, 4 ey’okukulaakulanya abantu n’okubakuuma nga balamu bulungi era bakugenda mu maaso n’enteekateeka nga zino.
Bisakiddwa: Nakato Janefer