Omuyimbi Kabuye Ssembogga yebazizza bannauganda abamuwagidde n’okwagala ennyimbaze zazze ayimba kati emyaka 42 beddu.

Ssembogga wadde alabise ng’omugonvugonvu tekimulobedde kusanyusa bawagizi be, mu kivvulu kye ekiyindidde ku Serena Hotel mu Kampala.

Carol Nnantongo ne Kabuye Ssembogga

Ayiimbye ennyimba ze zonna okuli Faima, Sheilah, Ebisaanyi n’endala.

Willy Mukaaba ng’ayimba “Akagaali kange nze mmanyi bwenkavuga….#

 

Awerekeddwako abayimbi abalala okubadde Eddy Yawe, Willy Mukaabya, Betty Mpologoma,Carol Nnantongo, Mary Bata, Bruno K n’abalala.

Betty Mpologoma ng’ayimba “Atakwagala oba omulaba..
Eddy Yawe ng’ayimba ” Mu kayembe kali……#

Ekivvulu kya Ssembogga kitegekeddwa Balunywa Promotions, nekiwagirwa Movit, UCC n’abalala.#