Kaliisoliiso ddiner etegekebwa CBS radio ng’eyita mu program yaayo emanyiddwa nga Kaliisolliso, ebeerawo okuva ku ssaawa emu n’ekitundu eyokumakya okutuuka ku ssaawa bbiri ku mukutu ogwa 88.8.

Kitegekeddwa ku hotel Africana olwa leero nga 03 October,2025, abayimbi ne bannakatemba ba bangi abaliyo okusanyusa abantu ba Kabaka.

Ticket y’okuwagira omulimu eri ku shs 300,000/=buli emu, emmeeza ey’abantu abangi waliyo ey’obukadde bwa shs 3m, 5m,10m.

Kaliisoliiso Dinner 2025 egendereddwamu okunoonya ensimbi ez’okuzimba ekifo ewatuukira abagudde ku bubenje mu Ddwaliro lye Nkozi, kikendeeze abantu abafiira mu bubenje ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.

Okusinziira ku akulira  ekitongole ekijjanjaba abagudde  ku bubenje mu ddwaliro lya Nkozi Hospital Dr. Kizito Samuel, buli lunaku eddwaliro lifuna abagudde ku bubenje abali wakati wa 8-10.

Agambye nti ekifo kino ekizimbibwa kyakuyambako okutuusa obujjanjabi obusaanidde ku bagudde ku bubenje.

Kyabalirirwa okuwemmenta obuwumbi  bwa shs 8, naye  oluvannyuma lwa CBS okubegattako basobodde okufuna obuwumbi busatu era nga mu kaseera  kano betaaga obuwumbi 4.9 omulimu ogwo okuggwa.

Okusinziira ku bibalo abantu 18 beebafiira mu bubenje buli lunaku mu Uganda, era nga kino kyekyawalirizza CBS okutandika okusonda  ensimbi ez’okuzimba ekifo ewatuukira abagudde ku bubenje nga bayita mu kivvulu kya Kaliisoliiso Dinner.

Akulira akakiiko akateesiteesi kékivvulu kino Omukungu Jane Kabugo akunze abantu okujjumbira ekivvulu kino kubanga ekyaluno tekibangawo.

Addukanya eddwaliro lya Nkozi Sister  Elizabeth Nalumaansi agambye nti omulimu tegubadde mwangu okutuuka wegutuuse naye mu kaseera kano guleeta akamwenyumwenyu ku matama.

Akulira ebiweerezebwa ku mpewo za  Cbs Abbey Mukiibi Nkaaga agambye nti baagaziyizza  enteekateeka eno, era nga kati tekyali ya ddwaliro lya Nkozi lyokka wabula ya Uganda yonna.#

 

Bisakiddwa: Ssekajjiija Augustus