Alambudde eddwaliro lya Buvuma health IV okulaba abantu gye bajjanjabirwa, asanzeeyo n'omukyala abadde yaakazaala, omwana azaaliddwa abadde muwala naamutuuma erinnya lya Nansamba olw'okuba kitaawe w'omwana yeddira Ngabi.
Minister w'eby'Obulamu Owek Nakate Chotildah Kikomeko asabye abantu ba Kabaka okwekebeza endwadde nga bukyali, n'Okukola buli kikuuma Emibiri nga miramu.
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Buvuma Mbuubi Michael Mboowa asabye nti Buvuma esaanye eyongerwe ku bifo awajjanjabirwa.
Akulira Eddwaliro lya Buvuma health center IV Dr Remmy Ndyanabo Kabyanga agambye nti Omuwendo gw'abaana abazaalibwa n'akawuka ka mukenenya e Buvuma guli waggulu, nti nga kivudde ku Bakyala obutaagala kwekebeza mukenenya nga bali mbuto.
Omukungu kitongole ekirwanyisa mukenenya ki Uganda AIDs Commission Dr. Steven Watiti, alabudde abakyala abagaana okugenda okufuna obujjanjabi ku ddwaliro nga bekwaasa Obusongasonga, nti balowooze nnyo ku bulamu bwabwe, n'obw'abaana bebazaala nebabaleka ku nsi nga baabawereba akawuka.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment