Katikkiro wa BugandaCharles Peter Mayiga agugumbudde abantu abefuula nti bagala nnyo obwakabaka nebatuuka n’okulengezza abakulembeeze nga belimbika mukulwanirira Buganda, abayise balabe  namba emu.

Katikkiro akinogaanyizza nti waliwo abalowooza nti bategeera ensonga za Buganda okusinga abalala nebawunzika nga  bakoze ebittajja.

Asabye abantu mu Buganda okwegendereeza abantu abo nti kubanga  bandiba nekigendererwa  eky’okunafuya Buganda.

Owomumbuga abadde ku Mbuga  enkulu  Bulange e Mengo, bw’abaddr atikkula abantu ba Kabaka oluwalo   okuva  mu ggombolola ezenjawulo  abakiise  munkola ya Luwalo lwange nga baleese ensimbi ezisobye mu bukadde 35.

Katikiro era yeweze nti siwakuddiriza mu kukunga  abantu ba Buganda okubeera obumu  n’okujjumbira entekateeka za  Buganda zonna,  eabula alabudde nti  waliwo  abagala  okuleetawo enjawukana mu bantu, n’agamba nti basaanye okubatunuulira enkaliriza.

Minister wa government ez’ebitundu Owekitibwa Joseph Kawuki ng’akikiriddwa Minister wa Mawulire ,okukunga abantu era Omwogezi w’obwakabaka Owekitiibwa Israel Kazibwe Kitooke, akalatidde abaami ba Kabaka  ku mitendera yonna okumanya obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa kibayambeko mu kuweereza Kabaka obulungi.

Abakiise embuga okubadde Hajji  Bbosa Juma Mayanja akulira olukiiko lwa Kabulasoke  PTC Gomba ne Ssekalegga Frank omwami wa Kabaka atwala eggombolola  Ssabaddu Kira beyamye nti bakusigala nga bawagira emirimu gyobwakabaka.

CBS Fans Club Bulemeezi

Egombolola ezikiise embuga nezireeta oluwalo kuliko  Ssabagabo Lufuuka ereese  kakadde 1,720,000/=

Kabulasoke PTC Gomba  obukadde  2,000,000/=.
Mutuba XII Kingo  okuva  eBuddu   obukadde 4,940,000/=.

Cbs Fans Club Bulemeezi 1,270,000/=.
Sabaddu Kira okuva e Kyadondo obukadde 13,660,000/=.
Mutuba 10 Ssemuto obukadde 2,000,000/=, Musaale Wakyaato obukadde 4 ,750,000/=.
Mutuba VIII  Kikandwa okuva e Ssingo  obukadde 4,870,000/=  nabalala.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius