Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami b’amasaza, okukulemberamu   abantu ba Kabaka mu lutalo lw’okulanyisa obwavu, nga bakola ebivaamu ensimbi n’okukubiriza abantu okujjumbira  okukola n’amaanyi

Katikkiro agamba nti kiswaaza abantu ba Buganda okudda mukusabiriza n’okulinda okuweebwa ensimbi okuva mu bannabyabufuzi,   kyokka  nga balina ettaka erimala okulima emmere n’okulunda  nebafuna ensimbi.

Katikkiro Okwogera bino  abadde   aggulawo olusilika lw’Abaami ba Masaza nabamyuka baabwe, Abatetesitesi b’Amasaza ,n’abalezi  baabwe.

Olusirika luyindira ku Pope Paul Memorial  Hotel mu Ndeeba, lutegekeddwa okwekenneenya  entambuza y’emirimu mu Masaza ne mu Bwakabaka bwonna.

Katikikiro alabudde  abantu ba Buganda okukoma okulinda Okuweebwa  wabula bakole, era asabye   Abaami  ba Kabaka obutekomomma, wabula  bakunge abantu okwenyigira  mu bivaamuu ensimbi.

Mungeeri eyenjawulo Ow’omumbuga akuutiidde  ab’Amasaza   obutekkirirannya n’okutitiira  nga bakola emirimu gya Kabaka , wabula babeere baavumu okwanganga buli kisoomooza.

Minister wa gavumenti ez’ebitundu era avunaayizibwa kukulambula kw’Omutanda nabantu ba Kabaka ebweru,  Owekitiibwa Joseph Kawuki , ategeezezza nti Abaami ba  Masaza bankizo nnyo mu ntambuza y’emirimu  mu Bwakabaka,  nga kikulu nnyo buligyo okubasomesa n’okubajjukiza obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa.

Ssentebe w’Abaami ba Masaza Pokiino Jude Muleke, kulwa banne yeyamye nti beetefuteefu okukola ekyetagisa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa Kabaka.

Olusirika lwatandise nga 22 July,2024 lukomekkerezebwa nga 24 July,2024.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius