Parliament ekkirizza ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki KCCA  okutunda ettaka erisangibwa   e Lugogo   ku plot  M69 ne  M70 saako   M731 erisangibwa ku Kira Road .

Gyevuddeko Minister Omubeezi owa Kamapala Kabuye Kyoffatogabye yatwaala okusaba mu parliament nga bagala ebakkirize okutunda ettaka lino.

Mu lutuula olukubiriziddwa amyuka Sipiika wa parliament Thomas Tayebwa, Minister Kabuye Kyoffatagabye ayunjulidde parliament ebiwandiiko ebyavudde mu Ministry y’ebyensimbi saako ey’ebyettaka ebirambika eby’ettaka lino, olwo neryoka ekkiriza KCCA okugenda mu maaso  okutunda ettaka eryo.

Wabula ababaka ku ludda oluvuganya government basoose kukalaambira nga bawakanya okusaba kwa KCCA.

Omubaka omukyala owa Tororo Sarah Opendi asoose kusaba Parliamnet eragire Minister wa Kamapala atwalire parliament ekiwandiiko ekikasa  nti kanso ya KCCA yayisa ekiteeso ekyo, eky’okutunda ettaka eryogerwako.

Akulira oludda oluvuganya Joel Ssennyonyi alabudde government okukomya okukola ebintu nga tegoberedde mateeeka,  nti kubanga  Sipiika w’olukiiko lwa KCCA Zahara  Luyirika yawandiikira dda Sipiika wa Parliament nga yemulugunya kukyabakulu okwagala okutunda ettaka nga tebasoose kwebuza ku lukiiko lwa bakansala.#