Embuga ya  Kisekwa ekakasizza nti omutaka Gabunga   Mubiru Ziikwa owa 37  yeyali Omusika  omutuufu ow’Omutaka  Yosiya Kasozi eyali Gabunga owa 36, eyabula mu 2009.
Mu Nsala eyaweebwa Embuga ya Kisekwa ey’omulundi ogwokuna,  esomeddwa akulira kkooti ya eno  omuggya  Dr.Robert Ssonko  agambye nti abawawabirwa  omuli Dr.Adams Kimala n’olukiiko olwali lukulira ekika ky’emmamba  tebalina musango gwonna gwebaakola nga basaaako omusika wa Yosiya Kasozi.
Mu mwaka  2012, abawaabi okuli Erusania Ssevviiri Galiwango, Ruth Ndagire , Alex Ndiwalana saako Mirembe Ruth era bonna babaddewo mu kkooti,  baddukira mu Mbuga ya Kisekwa nga bawakanya     James Mubiru Zziikwa okusikira kitaawe   Yosiya Kasozi  Gabunga owa 36, nga bagamba nti kino kyakolebwa mu bukyamu.
Omuk. Robert Ssonko  ategezezza nti omugenzi Yosiya Kasozi  mu kiraamo kye  yalambika bulungi nti James Mubiru Ziikwa ye musika we era nga ye Gabunga eyali Alina okusikira akasolya ako.
Omukungu  Ssonko nga  asoma Ensala  ya Kisekwa  era agambye nti ebisaliddwawo si bya kwawula kika wabula okuluηηamya n’okugatta ababadde batakiriziganya n’ebimu ku bibadde bigenda maaso mu kika kino.
Kyobe Gerald Kaberenge    Katikkiro w’ekika ky’emmamba agambye nti ab’ekika kyemmamba basaanye basigale nga Bali bumu kubanga bamusaayi gwe gumu..
Omusango guno guludde mu kkooti ya kisekwa era nga gumaze emyaka egisoba mu 12 nga guwulirwa n’okunoonyerezebwako.
Ensala eno  eteredwako emikono  gyabamemba  b’embuga ya Kisekwa abaawumula,    okuli  Omukungu JM Kateregga nga ye Kisekwa omuwummuze, Omuk Lubega Ssebende omuwandiisi, Wilson Ssentoogo, Jamil Ssewanyana, Samuel Walusimbi, George Makumbi, Deogratius Kasozi ne Salim Makeera.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius ne Kato Denis