Munamateeka Owek Peter Muliira, eyaliko Minista wa Buganda ow'Amasiro  avudde mu bulamu bw'ensi.   Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza Owek. Peter Mulira olw'obuvumu bwabadde ayolesa mu buweereza. Agambye nti Muliira abadde muntu  eyebuuzibwako, Omunoonyereza era awandiika ku nsonga ez’enjawulo. Owek   Peter Mulira yazaalibwa abagenzi Eldard ne Rebecca Muliira. Rebecca Muliira  yali muwala wa Ssekiboobo Ham Mukasa, era yali muganda wa Victoria Nalwanga, eyazaala Namasole Sarah Nalule, nnyina wa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.#