Ssettendekero wa Ssaabasajja Kabaka Muteesa I Royal University atongozza entekateeka  Namutayiika egyemyaaka etaano 2025/2030, Mwagenda okuyita okukyuusa Omutindo gw’Ebyenjigiria mu Bwakabaka.
Nnamutayiika ono atoongozeddwa Omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek Haji Dr. Prof Twaha Kawaase Kigongo.
Owek Haji Prof Twaha Kawaase Omumyuuka asooka owa Katikkiro
Owek Kawaase Kigongo asabye Ssettendekero w’Obwakabaka, akukozesa eby’obugagga ebiriwo omuli ettaka , kubeeko ebikolerwako nga byankulaakulana erabwako,Omuli okugaziya essomo ly’Ebyobulimi n’Obulunzi, Okunoonyereza n’ebirala, Olwo Abaana ba Buganda bafulume nga beetegefu okufuna emirimu.
Era asabye abasabye okukola ebintu ebyoleka ekitiibwa kya Nnamulondo, okunyweeza Ennono n’Obuwangwa, ate n’abayizi bafuna Obukugu n’Empapula ezisaanidde.
Minister w’Ebyenjigiriza Owek Nakaye Chotildah Kikomeko, asabye abaddukanya ssettendekero Ono okutumbula Obuyiiya mu Bayizi, oluvannyuma lwa ssettendekero wa Kabaka okufuna Charter okuvuganya obulungi mu kisaawe ky’Ebyenjigiriza, era abasabye okutumbula ebyobuwangwa n’Ennono mu Buganda n’ebweeru waayo.
Prof Vincent Kakembo Amyuka Cansala wa ssettendekero wa Muteesa the First Royal University
Amyuka Cansala wa ssettendekero wa Muteesa the First Royal University Prof Vincent Kakembo, ategeezezza nti ssettendekero yafunye emikago okuva mu America Ssonga azze afuna enkolagana n’Amatendekero Amalala ebweru wa Uganda, ekigenda okuyambako abayizi okweyunga ku bannaabwe mu Mawanga Amalala, n’Okunnyikiza Okunoonyereza ku bintu ebyenjawulo.
Bisakiddwa: Kato Denis