EKITIIBWA KYA BUGANDA

Oluyimba Ekitiibwa kya Buganda kyayiiyiibwa Rev. Polycarp Kakooza mu 1939.
Ekiddibwamu : (ky’ekisooka era kyekiddibwamu buli luvannyuma lwa kitundu)
Twesiimye nnyo, twesiimye nnyo
Olwa Buganda yaffe
Ekitiibwa kya Buganda kyava dda
Naffe tukikuumenga.
Ekitundu 1
Okuva edda n’edda eryo lyonna
Lino eggwanga Buganda
Nti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe
Okwetoloola ensi yonna
Ekitundu 2
Abazira ennyo abaatusooka
Baalwana nnyo mu ntalo
Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe
Naffe tulyagalenga
Ekitundu 3
Ffe abaana ba leero ka tulwane
Okukuza Buganda
Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe
Baafirira ensi yaffe
Ekitundu 4
Nze naayimba ntya ne sitenda
Ssaabasajja Kabaka
Asaanira afuge Obuganda bwonna
Naffe nga tumwesiga
Ekitundu 5
Katonda omulungi ow’ekisa
Otubeere Mukama
Otubundugguleko emikisa gyo era
Bbaffe omukuumenga