"Banna Uganda mwewale enjawukana mu mawanga, mu byobufuzi n'ebirala, bakolere obumu ng'abajulizi bwebalina mu myaka gya 1880, nebatuuka n'okugumira okuttibwa olw'eddiini, olwo nebasiimba emirandira gy'okukkiriza mu Uganda okutuuka kaakano" - Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu
Ssaabalabirizi yakulembeddemu okubuulira ku kiggwa ky'abajulizi e Namugongo, mu kusaba okubaddemu abantu abatasusse 200, olw'ebiragiro bya government ebyayimiriza okulamaga kw'abantu abangi nga bwegubeera bulijjo, n'ekigendererwa eky'okuziyiza okusaasaana kw'obulwadde bwa Ebola.
**********************************************
"Bannauganda mulabire ku bajulizi ba Uganda muyige okutegekera emirembe egyiddako, muleme kwefaako mwekka na mwekka" - Omulabirizi wa Mityana Ssaalongo James Bukomeko
Omulabirizi Bukomeko yakulembeddemu okusaba ku lunaku lw'abajulizi mu kusaba okubadde mu kanisa e Namukozi.
**********************************************
"Ekizibu mu ggwanga kati ge maka agatakyalimu ddiini n’okufaayo kw'abazadde ku bugunjufu nga bwegwalinga edda, nga ebiro bino buli muntu yefaako yekka nambuto zabwe" - Ssaabasumba Paul Ssemogerere
Ssaabasumba yakulembeddemu okusaba ku lw'abajulizi mu missa abadde mu Lutikko e Lubaga.
**********************************************
"Technology ebigendererwa ebyamuleeresa kwekutereeza enkola y'emirimu egyenjawulo, naye kati obuzibu obuzze be bantu abakozesa technology okubba, enguzi n'obulyake. Ebyo abajulizi abaafiirira eddiini eno tebandibiwagidde nakato. Kale nno bannange ababikola mweddeko " Omusumba wa Kiyinda Mityana Dr. Anthony Zziwa
Omusumba Anthony Zziwa yaakulembeddemu okusaba mu lutikko ya Kiyinda Mityana okujjukira abajulizi ba Uganda nga 03 June,2026.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment