NRM etongozza ennambika (Manifesto) y’ebinaakolebwa nga bannauganda bazzeemu okulonda Gen.Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ku kisanja ekyomusanvu.
Ennambika yebinagobererwa nga NRM ezzeemu okuwangula akalulu ka 2026-2031, etongolezeddwa ku Speke Resort Hotel e Munyonyo.
Ennambika ya NRM esiinze kutunuulira okutebenkeza ebyobufuzi n’ebyenfuna bya bannauganda n’eggwanga lyonna okutwalira awamu, ku mubala ogugamba nti okukuuma n’okunyweza ebituukiddwako, nokweteekateeka okunywerera mu lubu lw’amawanga agali yaddeyaddeko.
Bwabadde atongoza Manifesto ya NRM, president Museveni agambye nti essira wakulissa nnyo ku kwongera okunyweza ebyokwerinda, ebyenfuna, enfuga n’obukulembeze obulungi, okutondawo emirimu, okutumbula eby’ enguudo, amakolero, amasanyalaze.
Agambye nti mu kisanja ekijja, enkulakulana eggwanga lyakukula okutuuka ku buzito bwa buwumbi bwa doola 500.
Manifesto ya NRM eziimbiddwa mu mpagi  6:
1- Emirembe n’obutebenkevu nga wano essira lyakuteekebwa mu kwongera okunyweza amagye agaggumidde.
2- Okutumbula obugagga n’okutondawo emirimu, nga wano NRM yakuteeka essira ku kutumbula eby’obulimi, ICT n’amakolero.
3- Eby’okuzimba essira lyakuteekebwa ku kukola amakubo, amasanyalaze, amafuta, n’okubunyisa enkola endigito mu ggwanga lyonna.
4- Eby’enfuga ennuηηamu, NRM eruubirirwa okussa amaanyi mu kulwanyisa enguzi nokuteeka akazito ku bitongole byayo okuwa ensaasaanya n’embalirira esaanidde.
5- NRM era eruubirira okutumbula obuwereza n’okuwa abantu entandikwa nga wano essira lyakuteekebwa ku byobulamu,  ebyenjigiriza nensimbi zokwekulakulanya nga PDM, Emyooga, Ezaabakyala, abavubuka naabakadde.
6- Okutumbula enkolagana n’amawanga amalala naddala mu by’obusuubuzi.
President Museveni agambye nti ssinga banna Uganda baneesiga ekibiina kyabwe mu kisanja ekiddako bakwongera okulaba enkulakulana eyanamaddala mu Uganda.
President Museveni era aweze okwongera okukwasizaako eggwanga mu kuzimba amasomero, okuwandiisa abasomesa abawera emitwalo etaano ( 50,000) okulwanyisa ekibba ttaka, okubunyisa amazzi amayonjo n’okukwasizaako abalimi mu nteekateeka ezenjawulo nga abagabira ebintu ebibayamba naddala ebifukirira ennimiro, bbomba neebirala.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM, Richard Todwong, asinzidde mu kutongoza manifesto eno, naawera nti byebaluubiria byonna byakutuukirira era tewali kisuubiziddwa kyampewo, era nti bino byebimu ku birowoozo ekibiina byekyajja mu bantu byebagala okubakolera.
Bisakiddwa: Ddungu Davis

 

 

 

Revolutionary People’s Party:

Munna People’s Revolutionary Party Frank Bulira Kabinga, ategeezezza nti bagenda kulafuubanira obwenkanya nÉnfuga eya Federo, okulaba nga buli kitundu kya Uganda  kiganyulwa mu byÓbugagga bw’Ensi eno.

Agambye nti balina essuubi nti nga bakutte obuyinza bakulaba ng’ebitundu by’eggwanga byonna bikulaakanyizibwa kyenkanyi, nga besigama ku musingi ogwasimwa omutandisi w’ekibiina kyabwe omugenzi Dr.Aggrey Kiyingi.

Akabonero ka Revolutionary Paople’s Party Mpologoma.