Press Esc to close · ↑↓ to navigate · Enter to open
Now Playing
Home/News/Uncategorized/NUP yakawandiisa 8 abesowoddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubak...
Uncategorized
NUP yakawandiisa 8 abesowoddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North
Namubiru Juliet February 3, 2025 7:46 PM
Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nnalukoola yoomu ku bantu 8 abakaggyayo kaadi, okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North. Okuwandiisa abegwanyiza kaadi y’ekibiina kwakumala ennaku bbiri, nga ku lunaku olusooka, bawandiisizza 8. Abegwanyisa ekifo bagenze n’abawagizi babwe ku kitebe ky’ekibiina e Makerere Kavule okuwandiisibwa okuvuganya ku kaadi y’ekibiina, era buli omu avuddeyo ng’awera nti obuwagizi abuweza, […]
Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nnalukoola yoomu ku bantu 8 abakaggyayo kaadi, okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North.
Okuwandiisa abegwanyiza kaadi y’ekibiina kwakumala ennaku bbiri, nga ku lunaku olusooka, bawandiisizza 8.
Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola nga yewandiisa okufuna kaadi ya NUP, enamusobozesa okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North
Abegwanyisa ekifo bagenze n’abawagizi babwe ku kitebe ky’ekibiina e Makerere Kavule okuwandiisibwa okuvuganya ku kaadi y’ekibiina, era buli omu avuddeyo ng’awera nti obuwagizi abuweza, era nti yasaanye okwesimbawo.
Abakulira eby’okulonda mu NUP basaawo olwa nga 05 February,2025 okulaangirira anaaba ayise mu kasengejja, akwatire NUP akalulu.
NRM yo yamalirizza okusunsula owaayo,ye Hajjati Faridah Nambi.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment