Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde olukiiko olugenda okukulemberamu  enteekateeka z'okujaguza Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II  agomulundi  ogwa 33. Olukiiko  lukulemberwa  Owek. Joseph Kawuki, Amyukibwa Owek. Ssaalongo Robert Serwanga, bamemba ku Lukiiko ye Owek. Noah Kiyimba, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek. Ahmed Magandaazi Matovu   owe Ssazza Kyadondo  , Omuk. Josephine Nantege, Omuk. David Ntege ne Capt. Christopher Lutwama. Katikkiro Charles Peter Mayiga yayanjudde olukiiko luno ku Bulange e Mengo, nategeeza  nti, Omwaka guno 2026 Omuteregga yasiimye emikolo  gibeera  ku  Kkanisa ya Watoto  nga 31 Kasambula , ku  mulamwa ogugamba nti  "Tubeere Bavumu mu Kukuuma Obuwangwa bwaffe". Ow'omumbuga agamba nti bingi ebituukiddwako mu myaka 33 nga Nnyinimu Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi II alamula Obuganda, omuli eby’obulamu , eby'enjigiriza  nekulakulana endala . Mukuuma Ddamula nga yesigama ku Mulamwa gw’Omwaka guno, asabye Abantu ba Buganda okubeera abavumu n’obutekiriranya  ku nsonga z’Embuga. Ssentebe w’olukiiko olulondeddwa era  Minisita wa gavumenti ez'ebitundu era avunaanyizibwa ku bantu b'Omutanda ebweru wa Buaganda, Owekitiibwa Joseph Kawuki Balikuddembe   yeyamye nti bakukolagana n' abantu bonna okuteekateeka emikolo egy’ekitiibwa. Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yatikkirwa nga 31 Kasambula,1993 e Naggalabi Buddo.# Bisakiddwa: Ssebuliba Julius