Ensimbi ezaavujjiridde omulimu guno, Obwakabaka bwazifuna okuva mu ssaza Northern California mu San Francisco, Sacramento ne Nevad, erikulemberwa Owek. Patrick Nalika Ssendegeya, amyukibwa Paul Kiruuta, ng'ensimbi baazisonda nga bayita mu kibiina Buganda Amakula.
Minister wa Buganda ow'ebyenjigiriza n'ebyobulamu wamu ne wofiisi ya Nnabagereka Owek. Cotilda Kikomeko akuutidde abayizi okwongera okwewala okukwatibwa akakawuka ka mukenya kubanga katta ebirooto by'abantu.
Minister wa Buganda ow'ebyobulimi n'obwegassi Owek.Hajji Amis Kakomo yeebazizza banna Mukago bonna ababakwatiddeko okumaliriza oluzzi olwo.
Omwami wa Kabaka amulamulirako Essaza Kyaggwe Ssekiboobo Vincent Matovu akalaatidde Ssenkulu w'ettendekero lino okukolagana n'abantu abenjawulo omuwendo gw'abayizi gweyongere.
Ssenkulu wa Kasawo Institute of Business and Technical education David Mwesigwa agambye nti ettendekero eryo lyongedde okukula olwemikago gyebasse n'abantu.
Asabye Obwakabaka okuzimba bbuggwe ku Ssomero eryo nti kubanga mu kaseera kano abantu abamu batya okubawa abaana nga balowooza nti tebasobola kubakuuma.
Amyuka Ssentebe wa board y'essomero lino Margret Ssempala agambye nti Bagenda kwongera okugoberera okulambika okuva Embuga batwale ettendekero lya Kabaka mu maaso.
Abakulembeze b'omukitundu kino nga bakulembeddwamu Ssentebe w'ekyalo Namaliiri , Namubiru Josephine n'akuulira abavubuka ku kyalo ekyo.m Kamoga Ben basanyukidde nnyo oluzzi luno lwebagambye nti lugenda kumalawo obubenje abayizi bwebabadde bafunanga basala ekkubo okukima amazzi.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment