Okukuza wiiki entukuvu 2026 - abakkiriza basabiddwa okwekuba mu kifuba bakomye ebikolwa eby'okulumya abalala
Abagoberezi ba Kristu mu nsi yonna batandise wiiki Entukuvu nga balindirira amazuukira ga Yezu Kristu, era banyeenyezza amatabi okujjukira Yezu Kristu lweyayingira ekibuga ekikulu Yerusalemu mu kitiibwa.
Olunaku luno olw'amatabi oba olw'e Sunday entukuvu, lwe lumu ku nnaku ezisiinga okujjumbirwa abakkiriza, era amasinzizo agasiinga obungi gajjuza.
Ku lutikko e Lubaga ekitambiro kya missa kikulembeddwamu Rev. Fr. Achilles Mayanja Ssali, nalabula abantu abenyigira mu bikolwa ebyekko n'okulumya abalala okweyambisa amazuukira ga Yezu Kristu eyafiiririra ensi eno olw'ebibi by'abantu, bekube mu kifuba babikomye.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment