Okuddamu okulonda  ssentebe wa district ye Kikuube kugenda mu maaso olwaleero nga 18 June,2026, era ng'obuuma bu biometric machines bwebukozeseddwa okwetoloola ebifo byonna ebironderwamu.
Okwawukanako n'okulonda kwa bonna okwaliwo mu January,2026 mu kulonda president n'ababaka ba parliament obuuma obusiinga webwagaana okukola, mu kulondebwa okuzzeeko embeera egenda ekyuka, era ne Kikuube bwebukozesebwa.
Obuuma buno buyambyeko okwanguya okukebera abantu mu nkalala z'abalonzi, ng'abamu bategeezezza nti kibayambye okulonda mu budde ate nebagenda okukola emirimu emirala.
.Amyuka omwogezi w'akakiiko k'ebyokulonda Paul Bukenya ategezezza CBS nti okutwaliza awamu enteekateeka zitambula bulungi.
Okuddamu okulonda ssentebe w'e Kikuube kwazzeewo oluvanyuma lw'okufa kweyali ssentebe Peter Banura Kyaligonza eyafiira mu kabenje nga 4 April,2026.
Abavuganya mu kalulu k'e Kikuube bali babiri okuli Kisembo Paddy owa NRM ne Timanyire Fenekansi munnakibina kya NUP.
Akakiiko kagamba nti abantu abewandiisa okwetaba mu kulonda kuno bali 153,186 nga ku bano abakyala baliko 76,657, sso nga abasajja 77,529 nga bakondera  mu bifo 330 okwetoloola district eno..#