Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yabazizza omugenzi Can. Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema olw'okwagala Buganda ne Uganda.
Obubaka bwa Nnyinimu busomeddwa Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule mukusabira omugenzi Rhoda Kalema  mu Lutikko e Namirembe.
Kamalabyonna wa Buganda Owekitiibwa Charles Peter Mayiga  mu bubaka bwe bwatisse   Owek. Patrick Luwaga Mugumbule yabazizza omugenzi Rhoda Kalema olw'okusitula ekitiibwa ky'abakyala.
Nabagereka Silvia Naginda  Kulwa Famire ya Nelson Ssebugwawo, agambye nti omugenzi abadde n'omukwano  eri abalala era nga alwanirira enkulakulana ya bonna.
President Yoweri Kaguta Museveni obubaka bwe abutisse Minister Omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye, era  asabye bannauganda okutwala ekyokulabirako kya Rhoda Kalema mu kulwanirira ensi yabwe.
Kulwa family ya Martin Luther Nsibirwa,  Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda Oweek Robert Waggwa Nsibirwa ayogedde ku Ssenga we Rhoda Kalema nti abadde mugatta bantu era buli ekibazitoowerera gyebaddukira.
Ssaabalabirizi w'ekanisa ya uganda Dr.Samuel Steven Kazimba Mugalu  yaakulembeddemu Okusinza, era asabye abantu obutegulumiriza wadde nga balina ebifo ebyenkizo nga Rhoda Kalema bw'abadde.
Omulwanirizi we eddembe lyobuntu Maria Matembe yebazizza Omugenzi  Can. Rhoda Kalema olwokulwanirira abakyala n'okubagazisa obukulembeze, era eyakola ebintu ebigasa eggwanga lye awatali kukulembeza kwekkusa yekka.
Dr. Gladys Rhoda Nalubowa  Kalema Zikusooka Kulw'abaana b'Omugenzi   yebazizza mukadde waabwe olwokubalambika saako okubayigiriza obulamu obwabuligyo ekibayambye okubeera munsi eno obulungi.
Rhoda  Nalwejje Nakibuuka Nsibirwa Kalema muwala we yaliko Katikkiro wa Buganda Martin Luther Nsibirwa yafiiridde my Ddwaliro e Nairobi ku myaka 96 egy'obukulu.
Yaliko Omubaka mu parliament era ye mubaka omukyala eyasooka, yali Minister, era ajjukirwa nnyo okwenyigira buterevu mu lutalo olwaleeta government ya NRM, okulwanirira enfuga ya ssemateeka n'ebirala.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius