Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olw’engeri ebikolwa ebyokuwamba abantu gyebitaddewo obweraliikirivu mu bannansi, nebusaba bikomezebwe.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri Olukiiko lwa Buganda n’Okuwa ekifaananyi ky’Embeera mu Buganda nga bweyimiridde.
Olukiiko lukubiriziddwa sipiika w’olukiiko Owek.Patrick Luwaga Mugumbule.
Katikkiro agambye nti ebikolwa eby’engeri eyo eby’okuwamba abantu biyinza okuvaako obusambattuko, okuyiwa omusaayi, n’okuziηηamya enkulaakulana.
Wano wasiinzidde naasaba Omuduumizi w’Eggye lya Uganda Gen Muhoozi Kainerugaba ayimbule Munna NUP Eddie Mutwe, amukwaase police emutwale mu mbuga z’amateeka.
“Okutwalira wamu, mu bbanga ery’omwaka oguyise eby’enfuna tebibadde birungi nnyo naye tufubye okwerwanako. Tubadde yadde yaddeko era tutetenkanya , n’olwekyo tusaba abakulembera eggwanga lino obutassaawo mbeera eyinza okutabangula eggwanga n’okutuzza emabega”
Mu ngeri yeemu asabye bannauganda nti nga twetegekera akalulu ka 2026, abantu bagende mu kalulu nga bamkimanyi wabeerayo okuwangula n’okuwangulwa.

“Bannabyabufuzi basaana okukitegeera nti eby’obufuzi biringa ddiini.
Abantu bonna tebasobola kukuwagira mu mbeera zonna, tubasaba mwewale embeera y’ebyobufuzi ebaggya ku bannammwe” Katikkiro Mayiga.

Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okugumya Abantu ba Kabaka obutaggwaamu Maanyi olw’Ebyenfuna ebitali birungi, era bwebazizza abantu ba Kabaka olw’Obukozi.

Katikkiro ategeezezza nti mu kaweefube w’okunyweza eby’obulimi mu nkola ya Emwaanyi Terimba, Abantu ba Kabaka bongedde okufuna ensimbi okwekulaakulanya, naabasaba obutazivaako.

Katikkiro era asabye government eyawakati okutwala ensonga y’okusasula Obwakabaka nga nkulu, ku mulundi guno busasulwe.

“Government tugibanja ensimbi nkumu ddala. Tusaba ensimbi zetubanja zitusasulwe tusobole okukola ku nsonga zaffe. Ku mulundi guno, nsaba government ensonga eno egitwale nga nkulu ddala”.

Mu ngeri yeemu, Katikkiro aliko ensonga endala zaalambise , government zeerina okusaako amaanyi, okuganyula abantu ba babulijjo;

1-Okubunyisa amazzi amayonjo n’amasannyalaze ku bbeeyi ensaamusaamu, kiyambeko okutaasa obutonde bw’ensi

2-Okwongera omutindo ku by’obulimi n’obulunzi, n’okubifunira akatale

3-Okulwanyisa eddagala n’ebigimusa ebijingirire ku katale

4-Okukola enguudo zibeere zamutindo

5-Okugoberera ebintu byonna ebikolebwa nga byamutindo

Abakiise abenjawulo baliko ensonga zebanjudde mu lukiiko ez’etaaga okugoberera

Omwaami wa Ssaabasajja akulembera essaza Ssingo Mukwenda Deo Kagimu, avumiridde enkola ya government ey’okusima eky’obugagga kya Zzaabu okuva mu ssaza lino Ssingo, ate neritaweebwa Nguudo ekiziηamizza enkulaakulana mu Ssingo.

 

Omubaka wa Ssaabasajja mu Seattle America Eng Moses Gayi Ssekirevu Mayanja nga asinzidde ku mutimbagano, alaze obutali bumativu eri Ababaka mu lukiiko lwa Uganda abava mu Buganda abasuddewo obuvunaanyizibwa obwokulwanirira Buganda, nebadda mu byabwe.