Omusirikale wa police atemuddwa e Ggulu - ateeberezebwa okuba muganziwe akwatiddwa
Omusirikale wa police Akera Harriet atemuddwa mu bukambwe, nga kiteeberezebwa nti muganzi we gwebabadde baakafunamu obutakaanya naye y'amufumise ekiso naamutta.
Enjega eno kigambibwa nti yaguddewo ku lwokusatu nga 22 April,2026 ku ssaawa nga munaana n'ekitundu, ku kyalo Library Cell, mu Bardege Layibi Division mu district ye Ggulu.
Akera Harriet abadde akolera ku police ye Namukozi mu district ye Mityana.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment