Omwoleso gwa cbs   Pewosa ogutegekeddwa e Masaka gutandise nga 10 September, gukomekkerezebwa ku monday nga 15 September,2025, guli ku ssaza e Masaka.
 Gwatabwamu abamakorero amanene n’amatono, abagatta omutindo ku byebakola, ebitongole bya government, eby’obulimi n’abakola emirimu egyenjawulo bangi.
Wakabi Jacob  akulira ekitongole kya NIRA mu bendobendo lye Masaka ategezeeza nti nga basinziira mu mwoleso batandise okukola ku bantu abalina ensonga ez’enjawulo ezikwata ku ndagamuntu.
Mu mwoleeso   wategekeddwaawo emisomo omuli ogw’okweggya mu bwavu enkya ku Thursday nga 11, ate ku friday nga 12 wakubeerawo   Ttabamiruka akwata ku mmwaanyi ,  olwo  kulwomukaaga nga 13 bana Peweso  bakuvuganya mu mizannyo egyenjawulo nebirala.#