Parliament eye 12 eyisizza ekiteeso ekikakasa okulondebwa kw'omumyuka w'omukulembeze weggwanga Jesca Alupo ne Saabaminister w'e ggwanga Robina Nabanja mu lutuula lwa parliament eye 12 olusoose nga lukubiriziddwa sipiika omuggya Jacob Markson Oboth Oboth.
Ekiteeso ekisemba omumyuka w'omukulembezze w'eggwanga Jesca Alupo kireeteddwa omubaka wa Sheema South  Prof Emphraim Kamuntu, kisembeddwa ababaka okubadde omubaka waKampala Central Minsa Kabanda, omubaka wa district ye omoro Lamwak  Catherine nowa Soroti Division East Calvin  Echodu.
Kamuntu amwogeddeko nga omukyala omuyivu era alina obumanyirivu obumala okuweereza mu kifo kino omulundi ogwokubiri.
Ekiteeso ekisemba eyalondeddwa kubwa
Ssaabaminister Robinah Nabbanja kireeteddwa omubaka w'ekibuga kye Sorori  Jane Ruth Acheng, kisembeddwa ababaka okubadde Namara Denis owa  Buyaga west, ne Esther Anyakun omubaka omukyala owa  Nakapiripiriti, era bwamwogeddeko nga bwakyarina embavu n'amaanyi ag'okuweerezza mu kifo kino.
Mu ngeri yeemu Parliament ekakasizza akakiiko kaayo akasunsula n'okukuba ttooki mu bantu omukulembeze w'eggwanga babeera awadde obukulu akamanyiddwanga Parliaments' Appointments committee.
Akakiiko kano kakulemberwa sipiika wa parliament yennyini nga mu kiseera kino e Jacob Mackson Oboth Oboth nomumyuuka we Thomas Tayebwa Bangirana.
[caption id="attachment_50260" align="alignnone" width="300"] Sipiika wa Parliament Jacob Markson Oboth Oboth[/caption]
Abalala abakatuulako ye akulira oludda oluvuganya government, Nampala wa government,Nampala woludda oluvuganya government n'abalala.
Ababaka abalondeddwa ku kakiiko Kano kuliko aba NRM okuli Avura Jane Pachuto omubaka omukyala owa district ye Pakwach, Birungi Annet omubaka w'abakozi, Katushabe Ruth omubaka omukyala owa district ye Bukomansimbi, Kisa Stephen omubaka wa Luuka south, Dr Keefa Kiwanuka omubaka wa Kiboga East, Nagujja Judith omubaka omukyala owa district ye Buvuma Ndezi Alex omubaka w'abaliko obulemu, Hajjat Madiina Nsereko omubaka wa Kawempe South n'abalala
Ab'oludda oluvuganya government kuliko Joel Ssenyonyi akulira oludda oluvuganya government,Paul Mwiru Nampala woludda oluvuganya government mu parliament, Joseph Gonzaga Ssewungu omubaka wa Kalungu West, Okot Peter omubaka wa Tooch mu district ye Omoro munnaDP, Lucy Akello omubaka omukyala owa district ye Amuru n'abalala
Akakiiko Kano okusinziira ku sipiika wa Parliament Jacob Oboth Oboth kakutandiika emirimu gyako ku Monday nga 31 May,2026.
Akakiiko kano kagenda kumalako wiiki namba  nga kakuba ttooki mu ba minister omukulembeze w'eggwanga beyalonze.
Akakiiko kano bwekanaaba kasunsula abakulu, bannamawulire tebakkirizibwayo era nebibeerayo bibeera byakuloba bulobi mu nkuubo.
Parliament okuyisa ebiteeso bino ebadde ekubyeko bugule, era ng'ababaka abamu babadde babuliddwa webatuula, nebabayiiyiza obutebe.
Ababaka ba parliament bali 528, ab'e Kalangala bwebanaamaliriza okuddamu okulonda omubaka omukyala, nga bawera 529.