Parliament ebadde ekubirizibwa sipiika wa Parliament Anitah Annet Among, amwogeddeko ng'omubaka abadde tasosola mu bantu bonna, era nga bangi bamusaamiddwa omuli n'abawagizi ba NRM wadde abadde ku ludda oluvuganya government mu kibiina ki NUP.
Sipiika Among agambye nti wakusasulira Mulekwa ebisale by'essomero okutuuka wanaamalira senior eyokuna ku ssomero gy'abadde erya Kibuli SS, nga kino akikoze okuyita mu Bukedea and Magogo foundation.
[caption id="attachment_49504" align="alignnone" width="300"]
Omugenzi Hellen Nakimuli abadde omubaka omukyala owe Kalangala[/caption]
Omugenzi Hellen Nakimuli abadde omubaka omukyala owe Kalangala[/caption]
Buli mubaka aweereddwa akazindaalo ayogedde ku Hellen Nakimuli ng'abadde akwatagana na buli muntu era nti kibadde kizibu okumusanga ng'anyiize.
Bamwogeddeko ng'abadde alwanirira ensonga ezikwata ku bantu bokubizinga baabadde akiikirira, saako okuwanika bendera ya Uganda mu by'emizannyo egyetabiddwamu parliament ya Uganda, naddala omuzannyo gwa Volley ball gwabaddemu nga Captain wa parliament.
Ttiimu ya parliament eya Volley Ball ng'ekungubagira omubaka Hellen Nakimuli[/caption]

Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment