Police ye Kanoni mu gombolola ye Butenga mu district ye Bumomansimbi ekutte abantu 4 nebaggalira,  kigambibwa bekobaana nebatemaatema omuwala Christine Nannozi eyali akyali Nakawere nebamubbako omwana we.

Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okumutema baalowooza nti afudde, olwo nebalyoka bamubbako ebbuggye eryali ery’omwezi gumu ogw’obukulu.

Abakwate 4 bonna bafumbo, nga ababiri ye muwala eyalimba nti azaalidde bba omwana kumbe omwana mubbe,kwosa bba, awamu n’abafumbo abalala,  Nannozi weyatuukira ng’aggyiddwa ewabwe e Kalungu nebamutwala e Bukomansimbi gyebaamutemera.

Okukwatibwa kivudde ku  Nannozi Christine okukuba ku matu mu ddwaliro ekkulu e Mulago gy’amaze omwezi mulamba, olwo nattottola nti abamutusaako obulabe abamanyi era amanyi gyebabeera.

Ab’oluganda lwe basitukiddemu nebatemya ku police neekwata omu kwomu.

Basoose kuteekebwa ku police e Kanoni, kyoka nebagyibwawo ng’abatuuze bagala kubagajambula, nebatwalibwa ku CPS Bumomansimbi gyebagenda nayo okugyibwa  batwalibwe e Masaka bavunaanibwe.

Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior